Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda?

Ekigambo kya Katonda wandikisuubidde okuba eky’omuganyulo ennyo, era Bayibuli bw’etyo bw’eri. Bayibuli bukadde na bukadde zikubiddwa mu kyapa mu nnimi nnyingi. Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukyusa obulamu bw’abantu ne buba bulungi.Soma 2 Timoseewo 3:16; 1 Abasessaloniika 2:13.

Bayibuli Kigambo kya Katonda olw’okuba obunnabbi obugirimu butuukirira. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bunnabbi obuli mu kitabo kya Isaaya. Kopi y’ekitabo ekyo eyakoppololwa ng’ekyabula emyaka egisukka mu 100 Yesu azaalibwe ku nsi, yazuulibwa mu mpuku okumpi n’Ennyanja Enfu. Mulimu obunnabbi obugamba nti ekibuga Babulooni kyandifuuse matongo, nga tewali muntu yenna akibeeramu. Obunnabbi obwo bwatuukirira nga wayiseewo emyaka mingi nga Yesu amaze okuddayo mu ggulu. Omuntu obuntu tayinza kulagula kintu ng’ekyo ne kituukirira.Soma Isaaya 13:19, 20; 2 Peetero 1:20, 21.

Bayibuli yawandiikibwa etya?

Bayibuli yawandiikibwa mu bbanga lya myaka nga 1,600. Abasajja nga 40 be baawandiika ebitabo ebigirimu, naye bye baawandiika tebikontana. Ekyo kyasoboka kitya? Katonda yabaluŋŋamya.Soma 2 Samwiri 23:2.

Oluusi Katonda yayogeranga n’abo abaawandiika Bayibuli ng’ayitira mu bamalayika, mu kwolesebwa, oba mu birooto. Okusingira ddala, Katonda yawanga omuwandiisi obubaka, omuwandiisi ye ne yeerondera ebigambo eby’okukozesa ng’awandiika obubaka obwo.Soma Okubikkulirwa 1:1; 21:3-5.