OMUNAALA GW'OMUKUUMI Janwali 2014 | Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Bikomye?
Abantu bangi tebaagala na kwogera ku kufa. Muli bawulira nti tebandifudde. Okufa kulikoma?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Okufa
Omuntu asobola okufa ekiseera kyonna. Okufa kuleetedde bangi okwebuuza ebibuuzo bingi.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Abantu Bakoze Kyonna Ekisoboka Okukomya Okufa
Okumala ebyasa bingi, abantu banoonyezza engeri y’okukomya okufa. Okufa kulikoma?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Tebikomye!
Lwaki Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka? Kiki kye tuyinza okuyigira ku kuzuukiza abantu okwogerwako mu Bayibuli?
OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO
Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?
Ekitabo ekisooka mu Bayibuli kinnyonnyola ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo wadde ng’asobola okubiziyiza.
Obadde Okimanyi?
Mu kiseera kya Yesu, abantu baawangayo batya ebiweebwayo mu yeekaalu? Tukakasiza ku ki nti ebyo Lukka bye yawandiika bituufu?
BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU
“Yakuwa Yali Tanneerabidde”
Omukyala ono ayagala ennyo Katonda yamala n’afuna eby’okuddamu okuva mu Bayibuli mu bibuuzo ebikwata ku nsonga lwaki tufa, n’ekitutuukako nga tufudde. Soma omanye engeri amazima gye gaakyusaamu obulamu bwe.
Abantu Abaafa Bajja Kuzuukira
Abatume ba Yesu baali bakakafu nnyo nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abafu. Lwaki?
Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Biki by’omanyi ku Katonda? Oyinza otya okwongera okuyiga ebimukwatako?
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Biki Katonda by’Ayagala Nkole?
Okusobola okumanya ebyo Katonda by’ayagala okole olina kusooka kufuna kabonero oba okuyitibwa kuva gy’ali? Laba Bayibuli ky’egamba.

