Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

SEMBERERA KATONDA

“Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya”

“Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya”

Ddala Yakuwa asiima abo abafuba okumuweereza? Abantu abamu bayinza okugamba nti nedda, nga balowooza nti Katonda tatufaako. Naye endowooza eyo si ntuufu. Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, kitukakasa nti Katonda asiima nnyo abo abafuba okumuweereza n’obwesigwa era abalina okukkiriza. Weetegereze ebigambo by’omutume Pawulo ebiri mu Abebbulaniya 11:6.

Kiki ekyetaagisa okusobola okusanyusa Yakuwa? Pawulo agamba nti “Awatali kukkiriza tekiyinzika kusanyusa Katonda.” Weetegereze nti Pawulo tagamba nti awatali kukkiriza kizibu okusanyusa Katonda, wabula agamba nti tekiyinzika kumusanyusa. Ekyo kitegeeza nti kikulu nnyo okuba n’okukkiriza bwe tuba ab’okusanyusa Katonda.

Kukkiriza kwa ngeri ki okusanyusa Yakuwa? Okukkiriza kwaffe kulina okuba nga kuzingiramu ebintu bibiri. Ekisooka, ‘tuteekwa okukkiriza nti waali.’ Enkyusa za Bayibuli endala zigamba nti tuteekwa “okukkiriza nti wa ddala.” Ddala tuyinza okusanyusa Katonda bwe tuba tubuusabuusa nti gyali? Naye tetusaanidde kukoma bukomi ku kukkiriza nti gyali, kubanga dayimooni nazo zikkiriza nti Yakuwa gyali. (Yakobo 2:19) Bwe tuba tukkiriza nti ddala Yakuwa gyali, tulina okukyoleka mu bikolwa; tulina okweyisa mu ngeri emusanyusa.​—Yakobo 2:20, 26.

Eky’okubiri, ‘tuteekwa okukkiriza nti’ Katonda “y’awa empeera.” Omuntu alina okukkiriza okwa nnamaddala aba mukakafu nti bwe yeeyisa mu ngeri esanyusa Katonda aba tateganira bwereere. (1 Abakkolinso 15:58) Tetuyinza kusanyusa Yakuwa bwe tuba tetukkiriza nti asobola okutuwa empeera. (Yakobo 1:17; 1 Peetero 5:7) Omuntu alowooza nti Katonda tatufaako, nti tasiima bye tukola, era nti tasobola kutuwa mpeera, aba tamanyi Katonda ayogerwako mu Bayibuli.

Baani Katonda b’awa empeera? Pawulo agamba nti: “Abo abafuba okumunoonya.” Ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “abafuba okumunoonya” tekitegeeza “kugenda kunoonya” Katonda, wabula kitegeeza “okumusinza.” Ekitabo ekirala kigamba nti ekigambo ekyo kirina amakulu ag’okukola ekintu n’obunyiikivu. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awa empeera abo abamukkiririzaamu era abamusinza n’omutima gwabwe gwonna.​—Matayo 22:37.

Tetuyinza kusanyusa Yakuwa bwe tuba tetukkiriza nti asobola okutuwa empeera

Mpeera ki Yakuwa gy’ajja okuwa abaweereza be abeesigwa? Abasuubiza nti mu biseera eby’omu maaso ajja kubawa ekirabo ssemalabo, nga bwe bulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwe wano ku nsi. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Ekyo kiraga nti mugabi era atwagala nnyo. Ne mu kiseera kino, abo abafuba okunoonya Yakuwa bafuna emikisa mingi. Omwoyo omutukuvu, n’amagezi agali mu Kigambo kya Katonda bibayamba okuba mu bulamu obw’amakulu.​—Zabbuli 144:15; Matayo 5:3.

Awatali kubuusabuusa, Yakuwa Katonda asiima nnyo abaweereza be abeesigwa era abanyiikivu. Ekyo kikuleetera okwagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye? Bwe kiba bwe kityo, weeyongere okuyiga engeri gy’oyinza okufuna okukkiriza okunywevu n’okukwoleka.

Essuula za bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Noovemba

Tito 1Yakobo 5