Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bangi Banoonya eby’Okuddamu

Bangi Banoonya eby’Okuddamu

Bangi Banoonya eby’Okuddamu

“Kumpi buli omu alina ndowooza yiye ekwata ku [Yesu]. Ka kibe nti tumukkiririzaamu oba tubuusabuusa, ffenna twebuuza, ‘omusajja ono y’ani?’”​—OMUWANDIISI W’EBITABO, STAN GUTHRIE.

ABANTU baagala nnyo okumanya ebikwata ku Yesu. Firimu n’ebitabo ebimwogerako bye bisinga okutundibwa. Kyokka, abantu bakyebuuza ebikwata ku Yesu. Ate era balina endowooza za njawulo ku ekyo Yesu ky’ali.

Emyaka mitono emabega, bannamawulire babiri baasaba abantu okusindika obubaka ku Intaneeti nga bawa endowooza zaabwe ku kibuuzo ekigamba nti “Yesu yali ani?” Zino ze zimu ku ndowooza abantu ze baalina:

● “Ndowooza yali labbi (muyigiriza) eyassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga ekisa.”

● “Yali muntu wa bulijjo, eyali mu bulamu obutali bwa bulijjo.”

● “Tewali bukakafu bulaga nti Yesu yaliwo ku nsi.”

● “Yesu Mwana wa Katonda eyazaalibwa, n’afa, era n’azuukira okuva mu bafu okutulokola okuva mu bibi byaffe. Mulamu, era ajja kukomawo ku nsi.”

● “Nzikiriza nti Yesu Kristo yekka ye mwana wa Katonda, muntu wa ddala ate nga mu kiseera kye kimu katonda.”

● “Yesu lugero bugero lwa kito.”

Kyeyoleka kaati nti endowooza ng’ezo ezaawukana, zonna teziyinza kuba ntuufu. Waliwo we tusobola okuggya eby’okuddamu ebituufu era ebyesigika mu bibuuzo ebikwata ku Yesu? Abawandiisi ba magazini eno bakkiriza nti Bayibuli kye Kigambo kya Katonda era nti ye yokka etutegeeza amazima gonna agakwata ku Yesu. *​—2 Timoseewo 3:16.

Mu kitundu ekiddako, tujja kwetegereza eby’okuddamu Bayibuli by’ewa mu bibuuzo ebimu ebikwata ku Yesu ebitera okubuuzibwa. Ye kennyini yagamba nti “buli muntu yenna amukkiririzaamu,” ajja kulokolebwa. (Yokaana 3:16) Tukusaba weekenneenye eby’okuddamu era oluvannyuma weesalirewo obanga oneeyongera okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yesu era n’engeri gy’oyinza okulaga nti omukkiririzaamu.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ebisingawo, laba essuula 2, erina omutwe ogugamba nti: “Baibuli​—Kitabo Ekyava eri Katonda,” mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.