Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebitonde eby’Omwoyo Kye Biyinza Okutukolako

Ebitonde eby’Omwoyo Kye Biyinza Okutukolako

Kye Tuyigira Ku Yesu

Ebitonde eby’Omwoyo Kye Biyinza Okutukolako

Yesu yali abeera mu ggulu ne bamalayika awamu ne Kitaawe “ng’ensi tennabaawo.” (Yokaana 17:5) N’olwekyo, asobola bulungi nnyo okuddamu ebibuuzo bino wammanga.

Bamalayika batufaako?

▪ Okusinziira ku Yesu tuyiga nti bamalayika bafaayo nnyo ku bantu. Yagamba nti: “Bamalayika ba Katonda basanyuka nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenya.”​—Lukka 15:10.

Yesu yakiraga nti bamalayika baweebwa obuvunaanyizibwa okuyamba abaweereza ba Katonda okukuuma enkolagana yaabwe ne Katonda nga nnywevu. Bwe kityo, Yesu bwe yali alabula abayigirizwa be obuteesittaza balala, yagamba nti: “Mukakase nti temunyooma omu ku bato bano; kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe mu ggulu bulijjo balaba amaaso ga Kitange ali mu ggulu.” (Matayo 18:10) Okwogera bw’atyo, Yesu yali tategeeza nti buli omu ku bagoberezi be alina malayika eyamuweebwa okumukuuma. Wabula, Yesu yakiraga nti bamalayika abakolera okumpi ne Katonda bafaayo nnyo ku bantu abali mu kusinza okw’amazima.

Omulyolyomi ayinza atya okutukolako akabi?

▪ Yesu yalabula abagoberezi be nti Sitaani agezaako okulemesa abantu okuyiga amazima agakwata ku Katonda. Yagamba nti: ‘Omuntu awulira ekigambo ky’obwakabaka naye n’atategeera makulu gaakyo, omubi ajja n’anyakula ekisigiddwa mu mutima gwe.’—Matayo 13:19.

Yesu yayanika engeri emu Sitaani gy’alimbalimbamu abantu bwe yayogera ku lugero lw’omusajja eyasiga ensigo z’eŋŋaano mu nnimiro ye. Omusajja oyo yali akiikirira Yesu, era ng’eŋŋaano ekiikirira Abakristaayo ab’amazima abajja okufuga ne Yesu mu ggulu. Wadde kyali kityo, Yesu yagamba nti omulabe yajja “n’asiga mu ŋŋaano omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano.” Omuddo ogufaanana eŋŋaano gukiikirira Abakristaayo ab’obulimba. “Omulabe eyagusiga ye Mulyolyomi.” (Matayo 13:25, 39) Ng’omuddo ogwo bwe guyinza okufaanana eŋŋaano, abo abeeyita Abakristaayo bayinza okulabika ng’abasinza ab’amazima. Eddiini eziyigiriza eby’obulimba zireetera abantu okujeemera Katonda. Sitaani akozesa eddiini ez’obulimba okulemesa abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.

Tuyinza tutya okuziyiza Sitaani obutatukolako kabi?

▪ Yesu yayita Sitaani “omufuzi w’ensi.” (Yokaana 14:30) Yesu bwe yali asaba Katonda, yalaga engeri gye tuyinza okwekuumamu Sitaani. Ng’asabira abayigirizwa be, Yesu yagamba Kitaawe ow’omu ggulu nti: “Obakuume olw’omubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. Batukuze n’amazima; ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:15-17) Okumanya Ekigambo kya Katonda kisobola okutukuuma obutatwalirizibwa nsi omuli abantu ababi abafugibwa Sitaani.

Bamalayika batuyamba batya leero?

▪ Yesu yagamba nti: “Ku mafundikira g’enteekateeka y’ensi: bamalayika bajja kwawula abantu ababi okuva mu balungi.” (Matayo 13:49) Kati tuli mu ‘mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ era abantu bukadde na bukadde basiima amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.​—Matayo 24:3, 14.

Naye si bonna abatandika okuyiga Ekigambo kya Katonda nti basiimibwa gy’ali. Bamalayika bawa abaweereza ba Yakuwa obulagirizi nga bakola omulimu gwabwe era abantu abeesimbu era abaagala Katonda baawulibwa okuva mu abo abatayagala kukolera ku ebyo bye bayiga. Ng’ayogera ku abo abasiimibwa Katonda, Yesu yagamba nti: “Beebo abawulira ekigambo n’omutima omulungi ddala ne bakikuuma era ne babala ebibala n’obugumiikiriza.”​—Lukka 8:15.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 10 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Bamalayika bayamba mu kukuŋŋaanya abantu abeesimbu okujja mu kusinza okw’amazima