Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza?

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza?

Abasomi Baffe Babuuza

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza?

Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti okufa kwa Yesu Kristo kwassaawo ekinunulo ekisobozesa abo abamukkiriza okufuna obulamu obutaggwaawo. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16) Kyokka tebakkiriza nti Yesu yafiira ku musaalaba, nga bw’atera okulagibwa mu bifaananyi. Bakkiriza nti Yesu yafiira ku kikondo ekyali obusimba nga tekuli lubaawo luli bukiika.

Emisaalaba gyakozesebwanga mu Mesopotamiya emyaka ng’enkumi biri nga Kristo tannazaalibwa. Era obubonero bw’omusaalaba bwayolebwa ku njazi eziri mu nsi z’omu mambuka ga Bulaaya (Scandinavia) mu kiseera ky’Omulembe gw’Ekikomo ogwaliwo emyaka ng’enkumi ssatu nga Yesu tannazaalibwa. Mu kitabo ekiyitibwa Symbols Around Us, munnabyafaayo Sven Tito Achen ow’omu Denmark omukugu ku bikwata ku bubonero agamba nti abantu ng’abo abataali Bakristaayo baakozesanga omusaalaba “ng’akabonero k’obulaguzi . . . akaawanga abantu obukuumi n’emikisa.” Tekyewuunyisa nti ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba: “Abantu abataali Bakritaayo n’abo abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnajja baakozesanga omusaalaba, era ng’okusinga bagukozesa ng’akabonero k’ebintu eby’obwengula.” Kati olwo, lwaki amakanisa gaasalawo okukozesa omusaalaba ng’akabonero akasinga obutukuvu?

Kakensa Omungereza ayitibwa W. E. Vine agamba nti: “Ekyasa eky’okusatu A.D. we kyatuukira . . . abakaafiiri baali bayingidde amakanisa . . . era bakkirizibwa okusigala nga bakozesa obubonero bwabwe obw’ekikaafiiri. N’olwekyo, ennukuta Tau oba T,. . . ng’akakoloboze akagiri waggulu kassiddwako wansi, yatandika okukozesebwa.”​—Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words.

Vine era agamba nti ekigambo “omusaalaba” kyavvuunulwa okuva mu kigambo ekitegeeza “omuti oba ekikondo  . . so si omuti nga guliko omulala oguli obukiika ng’amakanisa bwe gagamba.” Kino kikkiriziganya n’ebiri mu kitabo ekiyitibwa Companion Bible ekya Yunivasite ya Oxford ekigamba nti: “Obukakafu obuliwo bulaga nti . . . Mukama waffe yafiira ku kikondo kimu ekyali obusimba so si ku mbaawo bbiri ng’olumu luteekeddwa bukiika ku lunnaalwo.” N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti amakanisa gaasalawo okukkiriza akalombolombo era nga tekali mu Baibuli.

Munnabyafaayo Achen eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Mu byasa ebibiri ebyaddirira nga Yesu amaze okufa, tewali kiraga nti Abakristaayo baakozesanga omusaalaba.” Ayongera n’agamba nti eri Abakristaayo abaasooka, omusaalaba “kyali kintu kibi era nga kikwata ku kufa, okufaananako akalabba akaakozesebwa mu mirembe egyaddako.”

Naye ekisinga obukulu kiri nti, ka kibe ki ekyakozesebwa mu kubonyaabonya n’okutta Yesu, Abakristaayo tebasaanidde kukozesa kibumbe wadde akabonero k’ekintu ekyo mu kusinza kwabwe. Baibuli egamba: “Muddukenga okusinza ebifaananyi.” (1 Abakkolinso 10:14) Yesu yatulekera akabonero akandiraze abagoberezi be abatuufu. Yagamba nti: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”​—Yokaana 13:35.

Okufaananako Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okutambulira ku misingi gya Baibuli mu kusinza kwabwe mu kifo ky’okugoberera obulombolombo. (Abaruumi 3:4; Abakkolosaayi 2:8) N’olw’ensonga eyo, tebakozesa musaalaba mu kusinza kwabwe.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Ekibumbe kya kabaka wa bwasuli omukaafiiri ng’ayambadde omusaalaba, awo nga 800 B.C.E.

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Photograph taken by courtesy of the British Museum