Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

“Tewali Kintu Kyonna Wansi w’Enjuba Kisaanidde Kubalemesa!”

“Tewali Kintu Kyonna Wansi w’Enjuba Kisaanidde Kubalemesa!”

OMWAKA gwa 1931. Abantu bangi okuva mu nsi 23 beekuluumulula nga bayingira mu kizimbe ekimu omulagibwa emizannyo mu kibuga Paris. Abantu abanekaanekanye bava mu bbaasi ezibasomba nga bwe zibayiwa awo mu maaso g’ekizimbe, era mu kiseera kitono ekizimbe ekyo kikubako. Abantu nga 3000 be bali mu kizimbe ekyo. Abantu abo tebazze kulaba mizannyo, wabula bazze kuwuliriza Ow’oluganda Joseph F. Rutherford, mu kiseera ekyo eyali atwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. Emboozi z’awa zivvuunulwa mu Lufalansa, mu Lugirimaani, ne mu Lupolandi. Ow’oluganda Rutherford ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka era buli ali mu kizimbe ekyo amuwulira bulungi.

Olukuŋŋaana olwo olunene olwali mu Paris lwali lwa byafaayo nnyo mu mulimu gw’okubuulira mu Bufalansa. Ow’oluganda Rutherford yakubiriza bonna abaaliwo, naddala abavubuka, okuweereza nga bakolopoota mu Bufalansa. John Cooke, omuvubuka eyali avudde mu Bungereza, teyeerabira bigambo bino: “Mmwe abavubuka, tewali kintu kyonna wansi w’enjuba kisaanidde kubalemesa kuweereza nga bakolopoota!” *

John Cooke, oluvannyuma eyafuuka omuminsani, awamu n’abalala bangi baayanukula omulanga ogwo. (Bik. 16:9, 10) Mu butuufu, omuwendo gwa bakolopoota mu Bufalansa gwalinnya okuva ku bakolopoota 27 mu 1930 okutuuka ku bakolopoota 104 mu 1931. Okuva bwe kiri nti bangi ku bapayoniya abo abaasooka baali tebamanyi Lufalansa, bandisobodde batya okubuulira abalala, okwolekagana n’ekizibu ky’obwavu, n’okwolekagana n’okusoomooza okulala?

OKWOLEKAGANA N’OBUZIBU BW’OLULIMI

Bakolopoota abo abaali abagwira baakozesanga nnyo bukaadi okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka. Ow’oluganda omu enzaalwa y’omu Bugirimaani eyabuulira ennyo mu Bufalansa agamba nti: “Twali bakakafu nti Katonda waffe wa maanyi nnyo. Amameeme bwe gaatukubanga, twabanga tetutidde bantu, wabula twabanga tutidde nti tuyinza okwerabira ebigambo bino: ‘Voulez-vous lire cette carte, s’il vous plaît? [Osabibwa okusoma kakaadi kano?]’ Twali tukimanyi nti omulimu gwaffe mukulu nnyo.”

Bakolopoota abaasooka baakozesanga eggaali ne ppikipiki nga bubuulira mu Bufalansa

Bakolopoota bwe baabanga babuulira, ebiseera ebisinga abakuumi tebaabakkirizanga kuyingira mu bikomera. Lumu bannyinaffe Abangereza babiri abaali batamanyi bulungi Lufalansa, baatuuka ku nnyumba okwali omukuumi omukambwe era n’ababuuza gwe baali baagala okulaba. Ng’anoonya engeri y’okukkakkanyaamu omukuumi oyo, mwannyinaffe omu yalaba akapande ku luggi akaaliko ebigambo: “Tournez le bouton [Nyiga akade].” Ng’alowooza nti eryo lyali linnya lya muntu, mwannyinaffe oyo yamugamba nti: “Tuzze kulaba Mukyala ‘Tournez le bouton.’” Ekyo kyasesa omukuumi oyo, era n’abakkiriza okuyingira.

OBWAVU N’OBUTABA KUMPI NA BA LUGANDA

Mu myaka gya 1930, abantu abasinga obungi mu Bufalansa baali baavu era ne bakolopoota abasinga obungi abagwira baali baavu. Ng’ayogera ku mbeera ye ne payoniya munne gye baayitamu, mwannyinaffe ayitibwa Mona Brzoska yagamba nti: “Okutwalira awamu, we twali tusula tewaali walungi, era ekimu ku bizibu eby’amaanyi bye twalina bwe butaba na bituyamba kubugumya nnyumba mu biseera by’obutiti. Obunnyogovu bwabanga bungi ne kiba nti buli ku makya, twalinanga okumenya bbalaafu eyabanga ku mazzi nga tetunnanaaba.” Embeera ng’ezo zaamalamu bapayoniya abo abaasooka amaanyi? Nedda! Omu ku bo yagamba nti: “Tetwalina kintu kyonna, naye tetwabulwa kintu kyonna.”—Mat. 6:33.

Bapayoniya Abangereza ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Paris mu 193

Bakolopoota abo abanyiikivu era baayolekagana n’ekizibu eky’obutaba kumpi na bakkiriza bannaabwe. Ku ntandikwa y’emyaka gya 1930, ababuulizi abaali mu Bufalansa baali tebawera na 700, ate abasinga obungi ku bo baali beesudde. Kiki ekyayamba bakolopoota abataali kumpi na bakkiriza bannaabwe okusigala nga basanyufu? Mona, eyayolekagana n’obuzibu obwo ng’ali wamu ne payoniya munne, yagamba nti: “Ekimu ku bintu ebyatuyamba kwe kuba nti twasomeranga wamu ebitabo by’ekibiina. Okuva bwe kiri nti mu kiseera ekyo, tetwaddiŋŋananga era tetwayigirizanga bantu Bayibuli mu maka gaabwe, ebiseera eby’akawungeezi twabikozesanga okuwandiikira ab’eŋŋanda zaffe ne bapayoniya abalala amabaluwa, ne tubabuulira ku bintu ebirungi bye twabanga tufunye mu mulimu gw’okubuulira era ne tuzziŋŋanamu amaanyi.”—1 Bas. 5:11.

Bapayoniya abo abaalina omwoyo ogw’okwefiiriza baasigala balina endowooza ennuŋŋamu wadde nga baali boolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Ekyo kyeyolekera mu mabaluwa ge baawandiikira ofiisi y’ettabi, ng’agamu baagawandiika wayiseewo emyaka mingi nga bavudde mu Bufalansa. Ng’ayogera ku kiseera ekyo, mwannyinaffe eyafukibwako amafuta ayitibwa Annie Cregeen, eyabuulira ennyo mu Bufalansa ng’ali wamu n’omwami we wakati w’omwaka gwa 1931 ne 1935, yawandiika nti: “Twafuna essanyu lingi nnyo mu kiseera ekyo! Ffenna bapayoniya twali bumu. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ‘Nze nnasiga, Apolo n’afukirira, naye Katonda ye yakuza.’ Mu butuufu, bapayoniya bonna abaabulira mu Bufalansa mu kiseera ekyo baalaba ebigambo ebyo nga bituukirira.”—1 Kol. 3:6.

Bapayoniya abo abanyiikivu baateekawo ekyokulabirako ekirungi abalala abaagala okugaziya ku buweereza bwabwe kye basobola okukoppa. Leero mu Bufalansa waliyo bapayoniya aba bulijjo nga 14,000. Bangi ku bo bali mu bibiina n’ebibinja eby’ennimi engwira. * Okufaananako bannaabwe abaabasookawo, nabo tebakkiriza kintu kyonna wansi w’enjuba kubalemesa kuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.—Okuva mu tterekero lyaffe mu Bufalansa.

^ lup. 4 Okumanya ebikwata ku mulimu gw’okubuulira ogwakolebwa mu Bapolandi mu Bufalansa, laba ekitundu ekirina omutwe, “Yakuwa Yabaleeta mu Bufalansa Muyige Amazima,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2015.

^ lup. 13 Mu 2014, ofiisi y’ettabi ey’omu Bufalansa yali erabirira ebibiina n’ebibinja eby’ennimi engwira ebisukka mu 900, ebikozesa ennimi 70 ez’enjawulo.