Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Teyejjusa Kye Yasalawo ng’Akyali Muvubuka

Teyejjusa Kye Yasalawo ng’Akyali Muvubuka

MU KISEERA ekyasembayo eky’obulamu bwe, jjajja wange, Nikolai Dubovinsky, yawandiika ebintu bye yayitamu ng’aweereza Yakuwa, ebisanyusa n’ebitasanyusa, nga bingi ku byo yabiyitamu mu kiseera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa bwe gwali guwereddwa mu Ukraine, nga Ukraine ekyafugibwa Soviet Union. Wadde nga jjajja yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, yasigala nga mwesigwa, era yabeeranga musanyufu bulijjo. Yateranga okugamba nti ayagala nnyo abavubuka bawulire ku bintu bye yayitamu. N’olwekyo, nnandyagadde okubabuulirako ebimu ku byo. Jjajja Nikolai yazalibwa mu 1926 ku kyalo ekiyitibwa Podvirivka ekisangibwa mu Chernivtsi Oblast, Ukraine. Amaka ge yazaalibwamu gaali maavu era baali balimi.

NIKOLAI ATUBUULIRA ENGERI GYE YAZUULAMU AMAZIMA

Jjajja Nikolai atandika bw’ati: “Lwali lumu mu 1941, muganda wange omukulu, Ivan n’aleeta awaka ebitabo, The Harp of God ne The Divine Plan of the Ages, ne magazini za Watchtower awamu n’obutabo obulala. Byonna nnabisoma era ne nneewuunya nnyo okukimanya nti Omulyolyomi ye nsibuko y’ebizibu byonna ebiri mu nsi, so si Katonda. Ng’oggyeeko okusoma ebitabo ebyo, nnasoma n’ebitabo by’omu Bayibuli eby’Enjiri, ne nkitegeera nti nnali nzudde amazima. Nnayagalanga nnyo okubuulirako abalala ku bisuubizo bya Katonda. Ebitabo ebyo bye nnasoma byannyamba okutegeera amazima era ne mpulira nga njagala okuweereza Yakuwa.

“Nnakimanya nti nnali wa kuyigganyizibwa olw’enzikiriza yange. Kyali kiseera kya lutalo era saali mwetegefu kutta muntu yenna. Okusobola okweteekerateekera ebigezo bye nnandyolekaganye nabyo, nnakwata bukusu ezimu ku nnyiriri z’omu Bayibuli, gamba nga, Matayo 10:28 ne 26:52. Nnamalirira mu mutima gwange okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa ne bwe kyandibadde nga kiyinza okunviirako okufa!

“Bwe nnaweza emyaka 18 mu 1944, nnayitibwa okugenda okuweereza mu magye. Mu kifo we baatukuŋŋaanyiza nnasangawo n’ab’oluganda abalala abaali bawezezza emyaka egy’okuyingizibwa mu magye, era ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okubeerako awamu ne bakkiriza bannange. Twategeeza ab’obuyinza nti twali tetujja kwenyigira mu lutalo. Baasunguwala nnyo ne batutiisatiisa okutussa enjala, okutusimisa enkonko, oba okutukuba amasasi. Twabaddamu n’obuvumu nti, ‘Tuli mu mikono gyammwe. Naye ka kibe ki kye musalawo okutukola, tetujja kumenya tteeka lya Katonda erigamba nti: “Tottanga.”’—Kuv. 20:13.

“Nze n’ab’oluganda abalala babiri twasindikibwa mu Belarus okukola mu nnimiro n’okuddaabiriza amayumba. Nkyajjukira ebintu eby’entiisa bye nnalaba mu kibuga Minsk mu kiseera ky’olutalo. Buli we nnatunulanga nnalabanga mirambo, emitulumbi gy’embalaasi egyali gigaŋŋalamye mu nkonko, n’emiti egyokeddwa egyali ku mabbali g’enguudo. Nnalaba ebigaali n’eby’okulwanyisa ebyali bisuuliddwa, era nnalaba n’ennyonyi eyali ekubiddwa. Nnalabira ddala ebintu ebibi ebiva mu kumenya amateeka ga Katonda.

“Olutalo lwaggwa mu 1945, naye twaweebwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka kkumi olw’okugaana okulwana. Emyaka esatu egyasooka tetwakuŋŋaanako wamu na ba luganda era tetwafunayo kitabo kyonna oba tulakiti okutuyamba mu by’omwoyo. Waliwo bannyinaffe be twawuliziganyaako nabo nga tubawandiikira amabaluwa, naye oluvannyuma nabo baakwatibwa ne basindikibwa mu nkambi y’abasibe bamaleyo emyaka 25.

“Oluvannyuma twateebwa mu 1950 ng’emyaka egyatusalirwa teginnaggwaako. Bwe nnali nga nkyali mu kkomera, maama wange ne mwannyinaze Maria baafuka Bajulirwa ba Yakuwa. Baganda bange abakulu baali tebannafuuka Bajulirwa ba Yakuwa, naye baali bayiga Bayibuli. Olw’okuba nneeyongera okubuulira, ab’obuyinza baayagala okuddamu okunsiba. Oluvannyuma ab’oluganda abaali balabirira omulimu gw’okubuulira bansaba okuyambako mu mulimu gw’okukuba ebitabo ogwali gukolebwa mu nkukutu. Mu kiseera ekyo, nnalina emyaka 24.”

OKUKOPPOLOLA EBITABO BYAFFE

“Ab’oluganda baateranga okugamba nti: ‘Bwe banaatugaana okukola omulimu gwaffe mu lujjudde, tujja kugukolera mu nkukutu.’ (Nge. 28:28) Ebiseera ebisinga omulimu gw’okukuppolola ebitabo byaffe twagukoleranga wansi mu mpuku. Ekifo kye nnasooka okukoleramu kyali wansi mu mpuku eyali esimiddwa mu nnyumba ya mukulu wange Dmitry. Oluusi nnamalanga wiiki bbiri nga sifulumye mu mpuku eyo. Ettaala gye nnakozesanga bwe yazikiranga olw’empuku obutaabaamu mpewo emala, nnagalamiranga wansi ne nnindako empewo emala esooke eyingire.

Ekifaananyi ky’empuku Nikolai gye yakolerangamu eyali wansi w’ennyumba

“Lumu ow’oluganda gwe nnali nkola naye yambuuza nti, ‘Nikolai, wabatizibwa?’ Wadde nga nnali mmaze emyaka 11 nga mpeereza Yakuwa, nnali sibatizibwanga. Ow’oluganda oyo yakubaganya nange ebirowoozo ku nsonga eyo, era ekiro ekyo nnabatizibwa mu nnyanja nga nnina emyaka 26. Nga wayise emyaka esatu, nnalondebwa okuba omu ku abo abaweereza ku Kakiiko k’Ensi. Mu kiseera ekyo, ab’oluganda abaali batasibiddwa baalondebwa okudda mu bigere by’abo abaali basibiddwa, bwe gutyo omulimu gw’okubuulira ne gugenda mu maaso.”

EBIZIBU BYE TWAYITAMU NGA TUKOLERA MU MPUKU

“Embeera gye twayitamu nga tukoppololera ebitabo byaffe mu mpuku yali nzibu nnyo n’okusinga gye twalimu nga tuli mu kkomera. Okusobola okwewala okulabibwa bambega ba KGB, nnamala emyaka musanvu nga sigenda mu nkuŋŋaana, era nnalina okwerabirira mu by’omwoyo. Ab’ewaffe nnabalabangako lwa lumu nga ŋŋenze okubakyalira. Embeera gye nnalimu baali bagitegeera, era banzizaangamu nnyo amaanyi. Okweraliikirira olutatadde n’okubeera ku bunkenke buli kiseera byammalamu amaanyi. Twalina okuba obulindaala buli kiseera. Ng’ekyokulabirako, lumu akawungeezi, abapoliisi babiri bajja we nnali mbeera. Nnayita mu ddirisa ne ngwa ebweru ne nzirukira mu kibira. Olwava bwe nti mu kibira, ne mpulira ebintu ebiwuuma. Bwe nnawulira amasasi agavuga ne ntegeera nti okuwuuma okwo gaali masasi agaali gampiseeko. Omu ku baali bangoba yeebagala embalaasi n’atandika okusasira amasasi gye nnali, okutuusa amasasi lwe gaamuggwaako. Essasi erimu lyankwasa omukono. Oluvannyuma lw’okungobera mayiro ssatu, nnaddukira mu kibira ne nneekweka. Oluvannyuma bwe nnali mpozesebwa, baŋŋamba nti amasasi ge baasasira nga bagezaako okunkuba gaali 32!

“Olw’okuba nnali mmaze ekiseera kiwanvu nga nkolera mu mpuku, nnayeruka nnyo. Omuntu yali asobola okutegeererawo kye nnali nkola. Nnafuba okulaba nga mmala ebiseera bingi nga nneeyanise mu kasana. Ekiseera kye nnamala mu mpuku kyakosa n’obulamu bwange. Lumu nnalemererwa okuba mu lukuŋŋaana lwe nnali nteekeddwa okubaamu olw’okuba nnali nvaamu omusaayi mu nnyindo ne mu kamwa.”

NIKOLAI AKWATIBWA

Nga ndi mu nkambi y’abasibe mu Mordvinia, mu 1963

“Nga 26 Jjanwali, 1957, nnakwatibwa. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, kooti ya Ukraine ey’oku ntikko yansalira ekibonerezo kya kukubibwa masasi. Naye olw’okuba ekibonerezo ky’okuttibwa kyali kyawerebwa mu Ukraine, nnaweebwa ekibonerezo kya kumala emyaka 25 mu kkomera. Nze n’ab’oluganda abalala musanvu twasindikibwa mu nkambi z’abasibe, mu Mordvinia, awaali Abajulirwa ba Yakuwa nga 500. Twakuŋŋaananga mu nkukutu nga tuli mu bubinja obutono ne tusoma Omunaala gw’Omukuumi. Lumu omu ku basirikale abaali batukuuma bwe yamala okusoma magazini zaffe ezaali zikwatiddwa yagamba nti: ‘Bwe muneeyongera okuzisoma, tewali kijja kubawangula!’ Emirimu gye twalinanga okukola buli lunaku twagikoleranga ddala bulungi, era emirundi mingi twakolanga egisinga ku egyo gye baabanga batuwadde. Wadde kyali kityo, eyali akulira enkambi mwe twali yatugamba nti: ‘Emirimu gye mukola wano tegitugasa. Ffe kye twagala kwe kutuwagira.’”

“Emirimu gye twalinanga okukola buli lunaku twagikoleranga ddala bulungi, era emirundi mingi twakolanga egisinga ku egyo gye baabanga batuwadde”

YASIGALA NGA MWESIGWA OKUTUUKIRA DDALA OKUFA

 

Jjajja Nikolai bwe yateebwa mu 1967, yayambako mu kutandikawo ebibiina mu Estonia ne mu kibuga St. Petersburg, ekiri mu Russia. Mu 1991, ekibonerezo kooti kye yamusalira mu 1957 kyasazibwamu olw’okuba tewaaliwo bujulizi bulaga nti yazza emisango egyali gimuvunaanibwa. Mu kiseera ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bangi abaali batulugunyiziddwa ennyo ab’obuyinza baggibwako emisango egyali gyabateekebwako. Mu 1996, Nikolai yasengukira mu kibuga Velikiye Luki ekiri mu Pskov Oblast, ekiri mayiro nga 300 okuva mu St. Petersburg. Yagula ennyumba, era mu 2003 Ekizimbe ky’Obwakabaka kyazimbibwa ku poloti ye. Leero ebibiina bibiri bikuŋŋaanira mu kizimbe ekyo.

Nze n’omwami wange tuweereza ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu Russia. Mu mwezi gwa Maaki mu mwaka 2011, ng’ebula emyezi mitono afe, jjajja Nikolai yatukyalira omulundi ogwasembayo. Twakwatibwako nnyo bwe yatugamba nti: “Okusinziira nga bwe ndaba ebintu, olunaku olw’omusanvu olw’okwetooloola ekibuga Yeriko lwatandika.” (Yos. 6:15) Mu kiseera ekyo yalina emyaka 85. Wadde nga yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi mu bulamu bwe, yagamba nti: “Ndi musanyufu nnyo nti bwe nnali omuto nnasalawo okuweereza Yakuwa! Kye nnasalawo sikyejjusa.”