OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjulaayi 2015
Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Agusito 31 okutuuka nga Ssebutemba 27, 2015.
Beewaayo Kyeyagalire —Mu Russia
Soma ku ngeri ab’oluganda abafumbo n’abatali bafumbo gye bagenze okuweereza mu Russia awali obwetaavu obusingako. Beeyongedde okwesiga Yakuwa!
Fuba Okwongera Okulungiya Olusuku olw’Eby’Omwoyo
Waliwo enjawulo wakati w’olusuku olw’eby’omwoyo ne yeekaalu ey’eby’omwoyo? ‘Olusuku lwa Katonda’ Pawulo lwe yalaba mu ‘ggulu ery’okusatu’ kye ki?
Okuweereza Yakuwa mu ‘Nnaku Embi’
Oyinza otya okusigala ng’olina okukkiriza okw’amaanyi era ng’oli munyiikivu ng’oweereza Yakuwa? Soma ku baweereza ba Katonda ab’edda beeyongera okumuweereza n’essanyu wadde nga baali bakaddiye.
‘Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka’!
Bubaka ki obunaalangirirwa ng’ekibonyoobonyo ekinene kitandise? Kiki ekinaatuuka ku baafukibwako amafuta mu kiseera ekyo?
Wandifuddeyo ku Ani Alaba Emirimu Gyo?
Ebyo bye tusoma ku Bezaleeri ne Okoliyaabu bituyamba okutegeera ensonga eno: Yakuwa alaba emirimu gye tukola ne bwe kiba nti abalala tebagiraba.
Weeyongere Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda
Abakristaayo bayinza batya okwetendeka okuba abeesigwa eri Yakuwa n’okuwagira Obwakabaka bwe?
Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza
Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bifo mwe tusinziza? Omulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, guwagirwa gutya mu by’ensimbi?
Obadde Okimanyi?
Bayibuli eraga nti ebitundu ebimu eby’Ensi Ensuubize byalimu ebibira. Okuva bwe kiri nti kati mu Isiraeri temuli bibira bingi, ekyo kisobola okuba ekituufu?

