OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjuuni 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Jjulaayi 27 okutuuka nga Agusito 30, 2015.

Kristo—Amaanyi ga Katonda

Ebyamagero Yesu bye yakola tebyaganyula abo bokka abaaliwo mu kyasa ekyasooka naye era byalaga ebyo by’anaakolera abantu bonna mu biseera eby’omu maaso.

Yayagala Nnyo Abantu

Engeri Yesu gye yakolamu ebyamagero eraga etya enneewulira ye?

Tusobola Okusigala nga Tuli Balongoofu

Bayibuli eraga ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli balongoofu.

‘Bwe Kiba nti Kingsley Asobola, Nange Nsobola!’

Kingsley, ow’omu Sri Lanka, yavvuunuka okusoomooza okutali kumu okusobola okuwa emboozi ye.

Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu I

Lwaki Yesu yatandika essaala eyo ng’atandika n’ebigambo “Kitaffe,” so si “Kitange”?

Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu II

Bwe tusaba Katonda atuwe emmere yaffe eya buli lunaku tuba tetusaba mmere ya mubiri yokka.

“Mwetaaga Okugumiikiriza”

Laba ebintu bina Yakuwa by’atuwadde ebisobola okukuyamba okugumira ebizibu.

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga okyajjukira.