OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Apuli 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Jjuuni 1 okutuuka nga Jjuuni 28, 2015.

Abakadde, Okutendeka Abalala Mukitwala Mutya?

Laba ebintu musanvu abakadde abamu bye bakoze nga batendeka abalala.

Engeri Abakadde Gye Bayambamu Abalala Okutuukiriza Ebisaanyizo

Abakadde basaanidde okukoppa Yesu nga batendeka abalala, ate abayizi basaanidde okukoppa Erisa.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Twafuna Emikisa “mu Biseera Ebirungi ne mu Biseera Ebizibu”

Ebikwata ku Trophim Nsomba, eyayigganyizibwa ennyo mu Malawi olw’okukkiriza kwe, bisobola okukuyamba okuba omumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa.

Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa?

Empuliziganya etuyamba okunyweza enkolagana yaffe. Oyinza otya okukolera ku musingi ogwo okunyweza enkolagana yo ne Katonda?

Weesige Yakuwa Bulijjo!

Osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.

Lwaki Okugoba Omwonoonyi mu Kibiina Kiba Kikolwa kya Kwagala

Lwaki ekintu ekireetawo obulumi ate kivaamu ebirungi eri bonna?

Omuti Bwe Gutemebwa Gusobola Okuloka?

Eky’okuddamu kikwata ku biseera byo eby’omu maaso.