OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Janwali 2015
Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa okuva nga Maaki 2 okutuuka nga Apuli 5, 2015.
Beewaayo Kyeyagalire —Mu New York
Lwaki omwami omu ne mukyala we baasalawo okuva mu nnyumba yaabwe ennene ne badda mu ggalagi?
Weebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa
Okusiima emikisa Yakuwa gy’atuwa kituyamba kitya okugumira ebizibu?WEB:OnSiteAdTitleWeebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa
Ensonga Lwaki Tukwata Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
Omanya otya nti Katonda akuwadde ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi?
Okuba n’Obufumbo Obunywevu era obw’Essanyu
Laba ebintu bitaano ebisobola okuyamba omwami n’omukyala okuba n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu.
Mukkirize Yakuwa Anyweze Obufumbo Bwammwe era Abukuume
Oyinza otya okwewala obwenzi n’ebizibu ebivaamu?
Kisoboka Okuba n’Okwagala Okwa Nnamaddala?
Abakristaayo abafumbo n’abo abali obwannamunigina balina bingi bye basobola okuyiga mu ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba.

