OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Noovemba 2014

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Ddesemba 29, 2014 ne Febwali 1, 2015.

Okuzuukira kwa Yesu Kutuganyula Kutya?

Weetegereze ebintu bina ebikakasa nti Yesu yazuukira. Okuba nti Yesu kati mulamu kyanditukutteko kitya?

Ensonga Lwaki Tulina Okuba Abatukuvu

Wali osomyeko ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi ne bikulema okutegeera oba n’owulira nga tebikunyumira? Okutegeera ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi kisobola okukuyamba okusinza Yakuwa ng’oli mutukuvu.

Tulina Okuba Abatukuvu mu Nneeyisa Yaffe Yonna

Kiki kye tulina okumanya ku kwekkiriranya, okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo obulungi, n’okulya emmere ey’eby’omwoyo enkalubo?

“Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe”

Abantu bonna abeesimbu abali mu madiini ag’enjawulo Katonda abatwala ng’abantu be?

“Kati Muli Ggwanga lya Katonda”

Tuyinza tutya okuba abantu ba Katonda?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abakadde n’abaweereza mu kibiina balondebwa batya? Abajulirwa ababiri aboogerwako mu Okubikkulirwa 11 be baani?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

Ekitangaala Kitandika Okwaka mu Japan

Ebiyumba bye baayitanga “Yeeku” byakozesebwa nnyo mu mulimu gw’okubuulira mu Japan.