OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjulaayi 2014

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Ssebutemba 1 ne 28, 2014.

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Micronesia

Abo abava mu nsi endala ne bagenda okubuulira ku bizinga ebiri ku Nnyanja Pacific boolekagana n’okusoomoozebwa kwa mirundi esatu. Ababuulizi b’Obwakabaka abo basobodde batya okwolekagana n’okusoomoozebwa okwo?

“Yakuwa Amanyi Ababe”

‘Omusingi n’akabonero’ ebyogerwako mu 2 Timoseewo 2:19 bituyamba bitya okumanya abantu ba Yakuwa?

Abantu ba Yakuwa ‘Balekayo Obutali Butuukirivu’

Ebigambo ‘okulekayo obutali butuukirivu’ birina kakwate ki n’ebintu ebyaliwo mu kiseera kya Musa? Biki bye tuyigira ku bintu ebyo?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nfiirwa Taata—Nzuula Taata

Soma ku byafaayo bya Gerrit Lösch, ali ku Kakiiko Akafuzi.

“Mmwe Muli Bajulirwa Bange”

Okuba nti tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa kitegeeza ki?

“Muliba Bajulirwa Bange”

Lwaki Yesu yagamba nti “muliba bajulirwa bange,” so si ba Yakuwa? Tuyinza tutya okwoleka obunyiikivu mu mulimu ogw’okuwa obujulirwa?