Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakadde mu Kibiina​—’Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’

Abakadde mu Kibiina​—’Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’

“Tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe.”​—2 KOL. 1:24.

1. Kiki Pawulo kye yawulira ekikwata ku b’oluganda mu Kkolinso ekyamusanyusa?

 MU MWAKA gwa 55 E.E., omutume Pawulo yakitegeerako nti ab’oluganda mu Kkolinso baalina obukuubagano, era ekyo kyamuyisa bubi. Olw’okuba yali abaagala nnyo nga taata bw’ayagala abaana be, yasalawo okubawandiikira ebbaluwa okubatereeza. (1 Kol. 1:11; 4:15) Pawulo era yatuma mukozi munne Tito okugenda e Kkolinso okukyalira ab’oluganda abo era n’amugamba amusange e Tulowa. Pawulo yamala ekiseera ng’alindirira Tito okujja e Tulowa amubuulire ebifa ku b’oluganda mu Kkolinso. Pawulo bwe yalinda Tito nga tamulaba, yasalawo okugenda e Makedoni era eyo gye baasisinkanira. Tito yagamba Pawulo nti ab’oluganda mu Kkolinso baali bakoledde ku ebyo bye yali abawandiikidde mu bbaluwa ye era nti baali beesunga okumulaba. Ebyo Pawulo bwe yabiwulira ‘yasanyuka nnyo.’​—2 Kol. 2:12, 13; 7:5-9.

2. (a) Kiki Pawulo kye yawandiikira Abakkolinso ekikwata ku kukkiriza n’essanyu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

2 Nga wayise ekiseera kitono, Pawulo yawandiikira Abakkolinso ebbaluwa ey’okubiri. Yabagamba nti: “Sigamba nti ffe tulina obuyinza ku kukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe, kubanga muyimiridde lwa kukkiriza kwammwe.” (2 Kol. 1:24) Kiki Pawulo kye yali ategeeza? Era kiki abakadde mu kibiina kye bayinza okuyigira ku bigambo ebyo?

OKUKKIRIZA KWAFFE N’ESSANYU LYAFFE

3. (a) Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Muyimiridde lwa kukkiriza kwammwe”? (b) Leero, abakadde mu kibiina bakoppa batya Pawulo?

3 Pawulo yayogera ku bintu bibiri ebikulu ennyo Abakristaayo bye balina okuba nabyo: okukkiriza n’essanyu. Bwe yali ayogera ku kukkiriza, Pawulo yagamba nti: “Sigamba nti ffe tulina obuyinza ku kukkiriza kwammwe, . . . kubanga muyimiridde lwa kukkiriza kwammwe.” Mu bigambo ebyo Pawulo yakiraga nti yali akimanyi nti ab’oluganda mu Kkolinso baali baweereza Katonda n’obwesigwa lwa kukkiriza kwabwe, so si lwa Pawulo oba lwa muntu mulala yenna. Bwe kityo, Pawulo yakiraba nti yali teyeetaaga kuba na buyinza ku kukkiriza kwa baganda be, era ekyo yali tayagala na kukikola. Yali yeesiga baganda be ng’akimanyi nti baali beesigwa eri Katonda era nti baali baagala okukola ekituufu. (2 Kol. 2:3) Leero, abakadde bakoppa Pawulo nga beesiga baganda baabwe nga bakimanyi nti balina okukkiriza okw’amaanyi era nti baweereza Katonda nga balina ebiruubirirwa ebirungi. (2 Bas. 3:4) Abakadde mu kibiina tebateerawo ba luganda mu kibiina mateeka makakali. Mu kifo ky’ekyo, babayamba okukolera ku misingi egiri mu Byawandiikibwa awamu n’obulagirizi bwe tufuna mu kibiina kya Yakuwa. Abakadde tebalina buyinza ku kukkiriza kwa baganda baabwe.​—1 Peet. 5:2, 3.

4. (a) Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe”? (b) Okufaananako Pawulo, kiki abakadde leero kye baagala?

4 Pawulo era yagamba nti: “Tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe.” Mu bigambo ebyo Pawulo yali yeeyogerako awamu ne banne be yali akola nabo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga mu bbaluwa eyo yennyini, Pawulo yayogera ku bakozi banne babiri. Yagamba nti: ‘Yesu yabuulirwa mu mmwe okuyitira mu nze ne Siruvano ne Timoseewo.’ (2 Kol. 1:19) Ate era, Pawulo buli lwe yakozesanga ebigambo ‘bakozi bannange’ mu bbaluwa ze, yabanga ayogera ku abo be yakolanga nabo ennyo mu mulimu gw’okubuulira, gamba nga Akula, Pulisikira, Timoseewo, ne Tito. (Bar. 16:3, 21; 2 Kol. 8:23) N’olwekyo, Pawulo bwe yagamba nti: “Tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe,” yali ayagala Abakkolinso bamanye nti ye awamu ne banne baali baagala okuyamba ab’oluganda bonna mu kibiina ekyo okuweereza Katonda nga basanyufu. Ne leero, abakadde mu kibiina baagala okuyamba bakkiriza bannaabwe ‘okuweereza Yakuwa nga basanyufu.’​—Zab. 100:2; Baf. 1:25.

5. Kibuuzo ki ab’oluganda abamu kye baabuuzibwa, era kiki kye tusaanidde okulowoozaako?

5 Gye buvuddeko awo ab’oluganda okuva mu nsi ezitali zimu baababuuza ekibuuzo kino, “Bintu ki abakadde bye baayogera oba bye baakola ebyakusanyusa?” Nga twetegereza ebyo bye baddamu, naawe lowooza ku bintu abakadde bye baayogera oba bye baakola ebyakusanyusa. Era lowooza ne ku ekyo ky’oyinza okukola okuyamba bonna mu kibiina kyo okufuna essanyu. *

“MULAMUSE PERUSI OMWAGALWA WAFFE”

6, 7. (a) Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu, Pawulo, n’abaweereza ba Katonda abalala? (b) Lwaki ab’oluganda basanyuka nnyo bwe tubayita amannya gaabwe?

6 Ab’oluganda bangi baagamba nti kibasanyusa nnyo abakadde bwe balaga nti babafaako. Ekyo abakadde bakikola nga bakoppa ekyokulabirako kya Dawudi, Eriku, ne Yesu. (Soma 2 Samwiri 9:6; Yobu 33:1; Lukka 19:5.) Buli omu ku baweereza ba Yakuwa abo yalaga nti afaayo ku balala ng’abayita amannya gaabwe. Omutume Pawulo naye yali akimanyi nti kikulu nnyo okukozesa amannya ga bakkiriza banne. Bwe yali akomekkereza emu ku bbaluwa ze, yatumira bakkiriza banne abasukka mu 25 ng’ayogera n’amannya gaabwe. Omu ku abo be yatumira yali Perusi, gwe yayogerako ng’agamba nti: “Mulamuse Perusi omwagalwa waffe.”​—Bar. 16:3-15.

7 Abakadde abamu batera okwerabira amannya g’ab’oluganda. Naye singa omukadde afuba okujjukira amannya g’ab’oluganda, abanga abagamba nti, ‘Muli ba muwendo nnyo gye ndi.’ (Kuv. 33:17) Ab’oluganda basanyuka nnyo abakadde bwe babayita amannya gaabwe nga babalonda okubaako kye baddamu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna.​—Geraageranya Yokaana 10:3.

“YAKOLA EMIRIMU MINGI MU MUKAMA WAFFE”

8. Pawulo yakoppa atya Yakuwa ne Yesu?

8 Pawulo era yalaga nti yali afaayo ku balala ng’abasiima era ng’eyo ye ngeri endala abakadde gye bayinza okuyamba bakkiriza bannaabwe okuweereza Katonda nga basanyufu. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolinso, Pawulo yabagamba nti: “Mbenyumiririzaamu nnyo.” (2 Kol. 7:4) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo ab’oluganda mu Kkolinso amaanyi. Pawulo era yasiima n’ab’oluganda abaali mu bibiina ebirala. (Bar. 1:8; Baf. 1:3-5; 1 Bas. 1:8) Mu bbaluwa gye yawandiikira ab’oluganda mu Rooma, Pawulo yagamba nti Perusi “yakola emirimu mingi mu Mukama waffe.” (Bar. 16:12) Nga Perusi ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yawulira ebigambo ebyo ebirungi Pawulo bye yamwogerako! Pawulo yakoppa Yakuwa ne Yesu ng’asiima abalala olw’ebirungi bye baali bakola.​—Soma Makko 1:9-11; Yokaana 1:47; Kub. 2:2, 13, 19.

9. Lwaki bwe tusiima bakkiriza bannaffe kibayamba okuweereza Katonda nga basanyufu?

9 Abakadde leero nabo bakimanyi nti kikulu nnyo okusiima ab’oluganda olw’ebirungi bye bakola. (Nge. 3:27; 15:23) Omukadde bw’asiima ow’oluganda, abanga amugamba nti: ‘By’okola mbiraba era mbisiima.’ Ab’oluganda kibazzaamu nnyo amaanyi abakadde bwe babasiima olw’ebirungi bye bakola. Mwannyinaffe omu ali mu myaka 50 yagamba nti: “Ku mulimu gye nkolera teri n’omu ansiima. Abantu abasinga obungi beefaako bokka era balina omwoyo gw’okuvuganya. N’olwekyo, omukadde bw’ansiima olw’ekintu kye mba nkoze mu kibiina, kinzizzaamu nnyo amaanyi! Kindeetera okuwulira nti Kitange ow’omu ggulu anjagala.” Ow’oluganda omu omuzadde ali obwannamunigina era alina abaana ababiri naye omukadde bwe yamusiima kyamuzzaamu nnyo amaanyi. Agamba nti: “Ebigambo omukadde bye yaŋŋamba byanzizaamu nnyo amaanyi!” Kya lwatu nti omukadde bw’asiima bakkiriza banne olw’ebirungi bye bakola ekyo kibayamba okweyongera okuweereza Katonda nga basanyufu. Era ekyo kisobola okubayamba okweyongera okutambulira mu kkubo ery’obulamu ‘nga tebakoowa.’​—Is. 40:31.

‘MULUNDENGA EKIBIINA KYA KATONDA’

10, 11. (a) Abakadde bayinza batya okukoppa Nekkemiya? (b) Kiki omukadde ky’ayinza okukola okusobola okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi ng’abakyalidde?

10 Engeri endala abakadde gye balaga nti bafaayo ku bakkiriza bannaabwe basobole okubayamba okuweereza Katonda nga basanyufu y’eruwa? Kwe kubaako kye bakolawo mu bwangu okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. (Soma Ebikolwa 20:28.) Abakadde bwe bakola bwe batyo, baba bakoppa abasajja abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda abaatwalanga obukulembeze mu bantu ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Nekkemiya bwe yakiraba nti abamu ku baganda be Abayudaaya baali baweddemu amaanyi, alina kye yakolawo mu bwangu okubazzaamu amaanyi. (Nek. 4:14) Ne leero, abakadde bakola kye kimu. Bwe bakiraba nti bakkiriza bannaabwe baweddemu amaanyi, bakola kyonna ekisoboka okubazzaamu amaanyi. Ekyo bakikola nga babakyalira mu maka gaabwe bwe kiba nga kisoboka. Bwe babakyalira bafuba okwogera ku bintu ebisobola okubazzaamu amaanyi mu by’omwoyo. (Bar. 1:11) Kiki omukadde ky’ayinza okukola okusobola okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi ng’abakyalidde?

11 Omukadde bw’aba tannagenda kukyalira mukkiriza munne, yeetaaga okufunayo ekiseera okumulowoozaako. Asaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: Bizibu ki omuntu ono by’ayolekagana nabyo? Biki bye nnyinza okwogera okusobola okumuzzaamu amaanyi? Byawandiikibwa ki ebiyinza okumuyamba? Muntu ki ayogerwako mu Bayibuli eyali mu mbeera efaananako n’eyiye gwe nnyinza okwogerako? Omukadde bw’asooka okulowooza ku bintu ng’ebyo, kisobola okumuyamba okwogera ebintu ebinaazimba mukkiriza munne. Omukadde bw’akyalira bakkiriza banne, asaanidde okufuba okubawuliriza nga baliko kye boogera. (Yak. 1:19) Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Omukadde bw’ampuliriza obulungi, kinzizzaamu nnyo amaanyi.”​—Luk. 8:18.

12. Baani mu kibiina abeetaaga okuzzibwamu amaanyi, era lwaki?

12 Baani abeetaaga abakadde okubakyalira? Pawulo yakubiriza bakadde banne ‘okukuuma ekisibo kyonna.’ Mu butuufu, ab’oluganda bonna mu kibiina, nga mw’otwalidde n’ababuulizi ne bapayoniya abamaze ekiseera nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa, beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Lwaki ab’oluganda abanywevu mu by’omwoyo nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi? Kubanga oluusi nabo bawulira ng’ebizibu ebiri mu nteekateeka ya Sitaani bibayitiriddeko. Okusobola okulaba ensonga lwaki abaweereza ba Katonda abanywevu mu by’omwoyo nabo oluusi beetaaga okuzzibwamu amaanyi, ka tulabe ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Kabaka Dawudi.

‘ABISAAYI YAMUDDUUKIRIRA’

13. (a) Lwaki Isubibenobu yali agenda kutta Dawudi? (b) Abisaayi yataasa atya Dawudi?

13 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okufukibwako amafuta okuba kabaka, Dawudi yayoleka obuvumu n’alwana ne Goliyaasi, omusajja eyali omuwagguufu n’amutta. (1 Sam. 17:4, 48-51; 1 Byom. 20:5, 8) Ku mulundi omulala, Abaisiraeri bwe baali balwana n’Abafirisuuti, Dawudi yalwana n’omusajja omuwagguufu omulala eyali ayitibwa Isubibenobu. (2 Sam. 21:16) Kyokka ku mulundi ogwo, kaabula kata omusajja oyo omuwagguufu atte Dawudi. Lwaki? Wadde nga Dawudi yali musajja muvumu, ku olwo yali akooye nnyo. Bayibuli egamba nti: ‘Dawudi yali ayongobedde.’ Isubibenobu bwe yalaba nga Dawudi akooye nnyo, ‘yayagala okumutta. Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yadduukirira Dawudi n’afumita Omufirisuuti oyo n’amutta.’ (2 Sam. 21:15-17) Nga Dawudi yayita ku lugwanyu! Dawudi ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti Abisaayi yali amukuumiddeko amaaso n’asobola okumutaasa bwe yali mu mbeera enzibu. Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki?

14. (a) Kiki ekituyamba okwaŋŋanga ebizibu eby’amaanyi? (b) Abakadde bayinza batya okuyamba abalala okuddamu amaanyi n’okufuna essanyu? Waayo ekyokulabirako.

14 Abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi beeyongera okuweereza Katonda n’obunyiikivu wadde nga Sitaani n’abo abali ku ludda lwe bagezaako okubaziyiza. Abamu ku ffe twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, naye olw’okuba twesiga Yakuwa, tusobodde okubigumira. Kyokka oluusi ebizibu bye tufuna bisobola okutunafuya. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo n’ebizibu bye twandisobodde okugumira bisobola okutumegga. Naye bwe tuba nga tuweddemu amaanyi ekyo omukadde asobola okukiraba era n’atuwa obuyambi bwe twetaaga ne tusobola okweyongera okuweereza Katonda nga tuli basanyufu. Mwannyinaffe omu ali mu myaka 60 era aweereza nga payoniya agamba nti: “Emabegako awo nnali seewulira bulungi era ng’okubuulira kunkooya. Naye omukadde bwe yakiraba nti nnali mpeddemu amaanyi, yantuukirira n’ayogerako nange. Yakozesa ebyawandiikibwa okunzizzaamu amaanyi. Nnakolera ku ebyo bye yaŋŋamba era ekyo kyannyamba nnyo. Ndi musanyufu nnyo okuba nti omukadde oyo yakiraba nti nnali mpeddemu amaanyi era n’annyamba.” Mu butuufu, ffenna kitusanyusa nnyo okukimanya nti tulina abakadde abatufaako era abeetegefu okutuyamba, nga Abisaayi bwe yali omwetegefu okuyamba Dawudi.

‘MUMANYE OKWAGALA KWE NNINA GYE MULI’

15, 16. (a) Lwaki ab’oluganda baali baagala nnyo Pawulo? (b) Lwaki twagala nnyo abakadde abaweereza mu bibiina byaffe?

15 Abakadde mu kibiina balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. Ebiseera ebimu abakadde babulwa n’otulo nga balowooza ku bakkiriza bannaabwe era oluusi bazuukuka n’ekiro okubasabira oba okubayamba. (2 Kol. 11:27, 28) Wadde kiri kityo, okufaananako Pawulo, abakadde bafuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe era ekyo bakikola n’essanyu. Pawulo yagamba Abakkolinso nti: “Nja kusanyuka okuwaayo buli kintu era nange kennyini nkozesebwe mu bujjuvu olw’obulamu bwammwe.” (2 Kol. 12:15) Olw’okuba Pawulo yali ayagala nnyo bakkiriza banne, yakola kyonna ekisoboka okubazzaamu amaanyi. (Soma 2 Abakkolinso 2:4; Baf. 2:17; 1 Bas. 2:8) Eyo ye nsonga lwaki ab’oluganda baali bamwagala nnyo!​—Bik. 20:31-38.

16 Ffenna twagala nnyo abakadde abaweereza mu bibiina byaffe era twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwa abakadde abo. Olw’okuba batufaako nnyo ekyo kituleetera essanyu. Bwe batukyalira tuwulira nga tuzzeemu amaanyi. Ate era tuli basanyufu okukimanya nti abakadde beetegefu okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu ebiri mu nteekateeka ya Sitaani. Mu butuufu, abakadde bakola nnyo okutuyamba okuweereza Katonda nga tuli basanyufu.

^ Ab’oluganda abo era baababuuza nti, “Ngeri ki gy’osinga okwagala omukadde abe nayo?” Abasinga obungi ku bo baagamba nti, “Alina okuba ng’atuukirikika.” Omunaala gw’Omukuumi gwe tunaafuna mu maaso awo gujja kulaga ensonga lwaki omukadde asaanidde okuba ng’atuukirikika.