Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Essanyu Eriri mu Kwerekereza

Essanyu Eriri mu Kwerekereza

DANIEL NE MIRIAM baafumbiriganwa mu Ssebutemba 2000 era ne babeera mu kibuga Barcelona ekya Sipeyini. Daniel agamba nti: “Twali mu bulamu obwa bulijjo, era emirimu gyaffe gyali gitusasula bulungi nga tusobola okulya mu wooteeri ennungi, okutambulako mu nsi endala, n’okugula engoye ennungi. Ate era twenyigiranga mu mulimu gw’okubuulira obutayosa.” Naye waliwo ekintu ekyatuleetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe.

Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 2006, Daniel yakwatibwako nnyo ekibuuzo kino ekyali mu mboozi emu: ‘Ddala tukola kyonna ekisoboka okuyamba abo “abagenda okuttibwa” basobole okudda mu kkubo ery’obulamu obutaggwaawo?’ (Nge. 24:11) Mu mboozi eyo bakkaatiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina obw’okubunyisa obubaka obuli mu Bayibuli obuwonyaawo obulamu bw’abantu. (Bik. 20:26, 27) Daniel agamba nti, “Nnawulira nga Yakuwa eyali ayogera nange obutereevu.” Mu mboozi eyo era baakiraga nti bwe tugaziya ku buweereza bwaffe tufuna essanyu lingi. Ekyo ne Daniel yali akimanyi, kubanga mukyala we Miriam yali yatandika dda okuweereza nga payoniya era ng’afunye emikisa mingi.

Daniel agamba nti, “Nnakiraba nti nnalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi.” Daniel yakendeeza ku biseera bye yali amala ng’akola, yatandika okuweereza nga payoniya, era yalowooza ne ku ssanyu ye ne Miriam lye bandifunye nga bagenze okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.

BAASOOKA KUFUNA KUSOOMOOZA NAYE OLUVANNYUMA NE BAFUNA ESSANYU

Mu Maayi 2007, Daniel ne Miriam baaleka emirimu gyabwe ne bagenda okuweereza mu Panama, ensi mwe baali baakyalako emabega. Ekimu ku bitundu bye baalina okubuuliramu byali bizinga ebitali bimu mu Nnyanja y’e Caribbean, era abantu abasinga obungi ku bizinga ebyo ba ggwanga eriyitibwa Ngabe. Daniel ne Miriam baali balowooza nti ssente ze baalinawo zandibasobozesezza okubeera mu Panama okumala emyezi munaana.

Baabuuliranga ku bizinga ebyo nga bakozesa amaato n’obugaali, era tebayinza kwerabira mulundi gwe baasooka okuvuga akagaali ku kimu ku bizinga ebyo. Baavuga mayiro nga 20 nga balinnya obusozi era ng’omusana gwaka nnyo. Daniel yakoowa nnyo n’abulako katono okuzirika. Naye abantu ku kizinga ekyo baabaanirizanga n’essanyu, nnaddala bwe baabawulira nga balina ebigambo ebitonotono bye boogera mu lulimi lwabwe. Mu kiseera kitono, baali bafunye abayizi ba Bayibuli 23.

Kyokka ssente bwe zaabaggwaako, essanyu lyabaggwaako. Daniel agamba nti: “Twanakuwala nnyo buli lwe twalowoozanga ku ky’okuddayo e Sipeyini. Twali tetwagala kuleka bayizi baffe aba Bayibuli.” Naye nga wayise omwezi nga gumu, baafuna amawulire ag’essanyu. Miriam agamba nti: “Baatulonda okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Kyatusanyusa nnyo okusigala mu Panama!”

EKINTU EKISINGA OKUBALEETERA ESSANYU

Mu 2015, olw’enkyukakyuka ezajjawo mu kibiina, Daniel ne Miriam baasabibwa okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Kiki kye baakola? Bassa obwesige bwabwe mu kisuubizo kya Yakuwa ekiri mu Zabbuli 37:5 awagamba nti: “Amakubo go gakwasenga Yakuwa; mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.” Daniel ne Miriam baasobola okufuna omulimu ogubasobozesa okweyimirizaawo nga baweereza nga bapayoniya, era leero baweereza mu kibiina ky’e Veraguas, mu Panama.

Daniel agamba nti: “Bwe twali tetunnava mu Sipeyini, twali tetukakasa nti tusobola okwerekereza ebintu ebimu mu bulamu. Naye twasobola okwerekereza ebintu ebyo era tewali kye tujula.” Kiki ekisinga okuleetera Daniel ne Miriam essanyu? Bagamba nti, “Okuyamba abantu ab’emitima emirungi okuyiga ebikwata ku Yakuwa kituleetera essanyu eritagambika!”