OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maayi 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Jjulaayi 1 okutuuka nga Agusito 4, 2019.

Okwagala n’Obwenkanya mu Kibiina Ekikristaayo

Etteeka lya Kristo kye ki, era likubiriza litya obwenkanya?

Okwagala n’Obwenkanya mu Nsi Ennyonoonefu

Abazadde bayinza batya okukuuma abaana baabwe ne batakabasanyizibwa, era abakadde bayinza batya okukuuma ekibiina?

Okubudaabuda Abo Abaakabasanyizibwa

Ekigambo kya Katonda, abakadde, ne bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo bayinza batya okubudaabuda oyo eyakabasanyizibwa?

Tobuzaabuzibwa ‘Magezi ga Nsi Eno’

Lwaki Yakuwa yekka y’asobola okuwa abantu obulagirizi obwesigika. Bayibuli etuyamba etya okwetunuulira mu ngeri entuufu?

Weeyongere Okulongoosa mu Ngeri Gye Weesomesaamu!

Tuyinza tutya okumanya bye tulina okukulembeza tusobole okuganyulwa mu bujjuvu mu kwesomesa?