OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maaki 2020

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Maayi 4-31, 2020.

Okwagala Yakuwa n’Okusiima by’Akukolera Kijja Kukuleetera Okubatizibwa

Okwagala kw’olina eri Yakuwa kuyinza okukuleetera okubatizibwa. Naye biki ebiyinza okukulemesa okubatizibwa?

Otuuse Okubatizibwa?

Engeri gy’oddamu ebibuuzo ebiri mu kitundu kino ejja kukuyamba okumanya obanga otuuse.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

“Tuutuno! Mututume!”

Jack ne Marie-Line batubuulira ekyabaleetera okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna n’ekyabayamba okutuukana n’embeera ez’enjawulo mu buweereza gye baabasindikanga.

Ekiseera Ekituufu eky’Okwogera Kye Kiruwa?

Laba ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebituyamba okumanya ddi lwe tuyinza okwogera oba okusirika.

Mwagalane Nnyo

Yesu yagamba nti okwagala kwe kwawulawo Abakristaayo ab’amazima. Okwagala kutusobozesa kutya okubeera abantu abaleetawo emirembe, abatasosola, era abasembeza abalala?

Obadde Okimanyi?

Ng’oggyeeko Bayibuli, bukakafu ki obulala obulaga nti Abayisirayiri baali baddu mu Misiri?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abasirikale Abayudaaya ab’omu yeekaalu baali baani? Baakolanga mirimu ki?