OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maaki 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Maayi 6 okutuuka nga Jjuuni 2, 2019

Kiki Ekiŋŋaana Okubatizibwa?

Abamu ku bantu abayize ebikwata ku Yakuwa balonzalonza okubatizibwa. Kiki ekisobola okubayamba okuvvuunuka ebyo ebibalemesa okubatizibwa?

Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa

Yakuwa ayogera atya naffe leero? Okuwuliriza Katonda kituganyula kitya?

Faayo ku Nneewulira y’Abalala

Yakuwa ne Yesu bakyolese batya nti balumirirwa abalala, era tuyinza tutya okubakoppa?

Faayo ku Balala ng’Obuulira

Bintu ki ebina bye tuyinza okukola okulaga nti tufaayo ku abo be tusanga nga tubuulira?

Obulungi​—Tuyinza Tutya Okubukulaakulanya?

Obulungi kye ki? Lwaki tulina okufuba okubwoleka?

Yakuwa Akitwala nga Kikulu bw’Ogamba nti “Amiina”

Abantu bangi batera okugamba nti amiina oluvannyuma lw’okusaba. Ekigambo ekyo kitegeeza ki era kikozesebwa kitya mu Bayibuli?