OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Janwali 2020

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Maaki 2–Apuli 5, 2020.

‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2020 kijja kutuyamba okwongera okulongoosa mu ngeri gye tukolamu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.

Osobola ‘Okuzzaamu Abalala Amaanyi’

Laba ebintu bisatu ebisobola okukuyamba okubudaabuda n’okuyamba abalala.

Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!

Bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’obulwadde, olw’ebizibu by’eby’enfuna, oba olw’okukaddiwa, tusaanidde okukijjukira nti tewali kisobola kutwawula ku kwagala kwa Kitaffe ow’omu ggulu.

“Omwoyo gwa Katonda Guwa Obujulirwa”

Omuntu akimanya atya nti afukiddwako omwoyo omutukuvu? Kiki ekibaawo ng’omuntu afukiddwako omwoyo omutukuvu?

Tujja Kugenda Nammwe

Tusaanidde kutwala tutya abalya era abanywa ku mukolo gw’Ekijjukizo? Singa omuwendo gw’abo abalya gweyongera, ekyo kyanditweraliikirizza?