Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Byonna Byaliwo lwa Kamwenyumwenyu!

Byonna Byaliwo lwa Kamwenyumwenyu!

ABAWALA babiri bwe baali batambula mu kibuga Baguio eky’omu Philippines, baalaba akagaali okwali kuteekeddwa ebitabo naye tebaagenda we kaali. Mwannyinaffe Helen eyali ayimiridde okumpi n’akagaali ako yabateerako akamwenyumwenyu. Abawala abo beeyongerayo gye baali bagenda naye baasigala beewuunya akamwenyumwenyu ako.

Oluvannyuma bwe baali mu bbaasi nga baddayo ewaabwe, baalaba ekipande ekinene ku Kizimbe ky’Obwakabaka nga kiriko ennukuta jw.org. Bajjukira nti ennukuta ezo ze zimu ze baali balabye ku kagaali. Baava mu bbaasi ne bagenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ne beetegereza akapande akalaga enkuŋŋaana ez’enjawulo we zibeererawo.

Abawala abo baagenda mu lumu ku nkuŋŋaana ezaddako. Beewuunya nnyo bwe baalaba Helen nga bayingidde mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Baamutegeererawo nti ye mukyala gwe baali balabye ng’ataddeko akamwenyumwenyu. Helen agamba nti: “Bwe baali bajja w’endi, nnafunamu okutya. Nnalowooza nti oboolyawo waliwo ekikyamu kye nnali nkoze.” Naye abawala abo baamunnyonnyola nti baali baamulaba ku kagaali.

Abawala abo baanyumirwa nnyo olukuŋŋaana n’okubeerako awamu n’ab’oluganda. Bwe baalaba abalala nga bayonja Ekizimbe ky’Obwakabaka oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, baabuuza obanga nabo baali basobola okwenyigiramu. Omu ku bawala abo takyabeera mu Philippines, naye omulala abeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa era yatandika okuyiga Bayibuli. Ebyo byonna byaliwo lwa kamwenyumwenyu!