OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Agusito 2017

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ssebutemba 25 okutuuka nga Okitobba 22, 2017.

Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?

Abamu ku baweereza ba Yakuwa ab’edda beebuuza ebbanga lye bandimaze nga bali mu mbeera enzibu, naye Katonda teyabanenya olw’okwebuuza ekibuuzo ekyo.

‘Emirembe gya Katonda Gisingira Wala Okutegeera Kwonna’

Wali weebuuzizza ensonga lwaki Yakuwa aleka ebizibu ebimu okukutuukako? Bwe kiba kityo, kiki ekiyinza okukuyamba okugumiikiriza ne weesiga Yakuwa?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Okugumira Ebizibu Kinviiriddemu Emikisa Mingi

Lwaki ab’oluganda abaali mu nkambi y’abasibe e Siberia baabuuzanga abantu ku nte ate nga baali banoonya ndiga? Eky’okuddamu kisangibwa mu byafaayo bya Pavel ne Maria Sivulsky.

Engeri Gye Tweyambulako Omuntu ow’Edda era ne Tumwewala

Ng’oggyeeko okweyambulako omuntu ow’edda, tulina n’okumwewalira ddala. Ekyo tuyinza tutya okukikola ne bwe kiba nti twali tumaze ebbanga ddene nga twenyigira mu bikolwa ebibi?

Engeri Gye Twambala Omuntu Omuggya era ne Tumukuuma

Yakuwa asobola okukuyamba okubeera omuntu asiimibwa mu maaso ge. Laba engeri gy’oyinza okwolekamu obusaasizi, ekisa, obwetoowaze, n’obukkakkamu mu bulamu bwo.

Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo

Ebyawandiikibwa biraga nti okwagala kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Okwagala kye ki? Tuyinza tutya okukukulaakulanya? Tuyinza tutya okukwoleka buli lunaku?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

“Tuliddamu Ddi Okufuna Olukuŋŋaana Olunene?”

Kiki ekyafuula olukuŋŋaana olunene olwaliwo mu kibuga Mexico mu 1932 okuba olw’enjawulo?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki ebyo Enjiri ya Matayo n’Enjiri ya Lukka bye zoogera ku bulamu bwa Yesu ng’akyali muto byawukana?