Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Johannes Rauthe ng’ali wamu n’abalala nga bagenda okubuulira, oboolyawo mu myaka gya 1920

ETTEREKERO LYAFFE

“Nfunye ebibala, era ekyo kireetedde yakuwa ettendo”

“Nfunye ebibala, era ekyo kireetedde yakuwa ettendo”

NG’EYOGERA ku ssematalo eyasooka, Watch Tower eya Ssebutemba 1, 1915 yagamba nti: “Entalo zonna ezaaliwo mu biseera eby’emabega ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku lutalo olugenda mu maaso mu Bulaaya.” Olutalo olwo lwazingiramu ensi nga 30. Ng’eyogera ku lutalo olwali lugenda mu maaso, Watch Tower eyo yagamba nti: “Omulimu [gw’Obwakabaka] gukoseddwa nnyo, naddala mu Bugirimaani ne mu Bufalansa.”

Mu kiseera kya ssematalo oyo, Abayizi ba Bayibuli baali tebategeera bulungi nsonga ekwata ku butabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi ne mu bukuubagano bw’ensi. Wadde kyali kityo, baali bamalirivu okubuulira amawulire amalungi. Olw’okuba yali ayagala nnyo okubuulira, Ow’oluganda Wilhelm Hildebrandt yalagiriza tulakiti ezaali ziyitibwa The Bible Students Monthly ez’Olufalansa. Wilhelm yali tagenze mu Bufalansa nga Kolopoota (omubuulizi ow’ekiseera kyonna), wabula yali agenzeeyo ng’omu ku basirikale Abagirimaani. Wadde nga Wilhelm yali asuubirwa okuba omulabe wa Bufalansa, yagabira Abafalansa abaamuyitangako tulakiti eyo eyalimu obubaka obw’emirembe, era ekyo kyabeewuunyisa nnyo.

Amabaluwa agatali gamu agaafulumira mu Watch Tower gaalaga nti waaliwo n’Abayizi ba Bayibuli abalala bangi Abagirimaani abaali babuulira amawulire amalungi nga bali mu magye. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Lemke, eyali mu ggye ery’oku nnyanja, yagamba nti bataano ku basirikale be yali akola nabo baali baagala okuyiga Bayibuli. Yagamba nti: “Ne ku mmeeri eno, nfunye ebibala, era ekyo kireetedde Yakuwa ettendo.”

Georg Kayser yagenda mu lutalo nga munnamagye naye n’akomawo eka nga muweereza wa Katonda ow’amazima. Ekyo kyasoboka kitya? Bwe yali mu magye, yafuna akatabo akaakubibwa Abayizi ba Bayibuli, n’akkiriza amazima, era n’alekera awo okulwana. Mu magye yatandika okukola emirimu egyali giteetaagisa kukwata mmundu. Olutalo bwe lwaggwa, yaweereza nga payoniya okumala emyaka mingi.

Wadde ng’Abayizi ba Bayibuli baali tebannategeera mu bujjuvu ensonga ekwata ku butabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi ne mu bukuubagano bw’ensi, enneeyisa yaabwe yali ya njawulo nnyo ku y’abantu abalala. Wadde nga bannabyabufuzi n’abakulembeze b’amadiini baali bawagira olutalo olwo, Abayizi ba Bayibuli bo baanywerera ku ‘Mukulu ow’Emirembe.’ (Is. 9:6) Wadde ng’Abayizi ba Bayibuli abamu tebeewaalira ddala kubaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, baalina endowooza ng’ey’Ow’oluganda Konrad Mörtter eyagamba nti: “Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, nkiraba nti kikyamu Omukristaayo okutta.”​—Kuv. 20:13. *

Hans Hölterhoff yakozesa ekigaali kye okulanga magazini eyitibwa The Golden Age

Okusinziira ku mateeka ga Bugirimaani, buli muntu yenna eyayingizibwanga mu magye yalinanga okukwata emmundu, era Abayizi ba Bayibuli abasukka mu 20 mu Bugirimaani baagaana okuyingira mu magye. Abamu ku bo baatwalibwa ng’abalwadde b’obwongo. Ng’ekyokulabirako, Gustav Kujath, yatwalibwa mu ddwaliro ly’abalwadde b’obwongo era ne batandika okumupakira eddagala. Hans Hölterhoff, naye eyagaana okuyingira amagye, baamusiba mu kkomera, era bwe yali eyo yagaana okukola omulimu gwonna ogulina akakwate n’amagye. Abasirikale baamusiba ekikooti ne bamumyumyula n’atuuka n’okusannyalala. Ekyo bwe kyalema okumuleetera okwekkiriranya, abasirikale baatiisatiisa okumutta. Wadde kyali kityo, Hans yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa mu kiseera kyonna eky’olutalo.

Ab’oluganda abamu abaayingizibwa mu magye baagaana okukwata emmundu era ne basaba baweebwe emirimu egitazingiramu kukwata mmundu. * Omu ku bo yali ayitibwa Johannes Rauthe, eyasindikibwa okukola ku luguudo lw’eggaali y’omukka. Konrad Mörtter yasindikibwa okuyambako ku basawo, ate ye Reinhold Weber yakola gwa kujjanjaba bantu. August Krafzig yasanyuka nnyo olw’okuba nti omulimu gwe yali akola gwali tegumwetaagisa kugenda mu ddwaniro. Abayizi ba Bayibuli abo n’abalala bangi baali bamalirivu okuweereza Yakuwa, wadde ng’ebyo bye baali bamanyi byali bitono.

Engeri Abayizi ba Bayibuli gye beeyisaamu ng’olutalo lugenda mu maaso, yaleetera gavumenti okutandika okubeekengera. Mu myaka egyaddirira oluvannyuma lw’olutalo, Abayizi ba Bayibuli bangi baatwalibwa mu kkooti nga bateekeddwaako emisango egitali gimu olw’omulimu gwabwe ogw’okubuulira. Okusobola okubayamba, ofiisi y’ettabi ey’omu Bugirimaani eyali mu Magdeburg yassaawo ekitongole ekikola ku by’Amateeka.

Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Abajulirwa ba Yakuwa beeyongera okutegeera engeri gye balina okweyisaamu ku bikwata ku butabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi n’obukuubagano bw’ensi. Ssematalo ow’okubiri bwe yabalukawo, baagaanira ddala okuyingira amagye. N’ekyavaamu, baatandika okutwalibwa ng’abalabe ba gavumenti ya Bugirimaani era baayigganyizibwa nnyo. Ebisingako awo tujja kubiraba mu kitundu ekirala ekirina omutwe “Etterekero Lyaffe” ekijja mu maaso eyo.​—Okuva mu tterekero lyaffe mu Masekkati ga Bulaaya.

^ lup. 7 Laba ebikwata ku Bayizi ba Bayibuli abaali mu Bungereza mu Ssematalo I, mu kitundu ekirina omutwe “Etterekero Lyaffe​—Baasigala nga Banywevu ‘mu Kiseera eky’Okugezesebwa’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2013.

^ lup. 9 Amagezi ago gaaweebwa mu muzingo ogw’omukaaga okw’ekitabo ekiyitibwa Millennial Dawn (1904) ne mu magazini ya Zion’s Watch Tower ey’Olugirimaani eya Agusito 1906. Watch Tower eya Ssebutemba 1915 yafulumiramu ekitundu ekyayongera okutangaaza ku nsonga eyo, nga kigamba nti Abayizi ba Bayibuli tebalina kuyingira mu magye. Naye ekitundu ekyo tekyafulumira mu Zion’s Watch Tower ey’Olugirimaani.