Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Katonda addamu essaala z’abantu bonna?

OLOWOOZA OTYA?

  • Addamu essaala z’abantu bonna

  • Adamu essaala z’abantu abamu

  • Taddamu ssaala za muntu yenna

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna . . . abamukoowoola mu mazima.”​—Zabbuli 145:18.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Katonda tawulira ssaala z’abantu abatagondera mateeka ge. (Isaaya 1:15) Kyokka, Katonda asobola okuwulira essaala z’abantu ng’abo singa balekera awo okukola ebintu ebibi ne bakola by’ayagala.​—Isaaya 1:18.

  • Katonda okusobola okuddamu essaala z’omuntu, omuntu oyo by’asaba birina okuba nga bituukana n’ebyo Katonda by’ayagala.​—1 Yokaana 5:14.

Waliwo engeri ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba?

ABANTU ABAMU BALOWOOZA nti bwe baba basaba balina okufukamira, oba okukutamya ku mutwe. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Bayibuli eraga nti Katonda yawuliriza essaala z’abantu abaasaba nga ‘batudde,’ nga ‘bayimiridde,’ nga ‘beeyaze wansi,’ oba nga ‘bafukamidde.’ (1 Ebyomumirembe 17:16; 2 Ebyomumirembe 30:27; Ezera 10:1; Ebikolwa 9:40) Katonda tateekawo tteeka ku ngeri omuntu gy’alina okubaamu ng’asaba.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI