Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amadiini agasinga obungi gayigiriza nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI EYOGERA KI KU BULAMU N’OKUFA?

Ekintu Bangi kye Beebuuza

Ekintu Bangi kye Beebuuza

ABANTU balina endowooza za njawulo ku bulamu n’okufa. Abamu balowooza nti omuntu bw’afa asigala nga mulamu mu ngeri endala oba mu kifo ekirala. Ate abalala balowooza nti omuntu bw’afa ebibye biba bikomye.

Ggwe olowooza otya? Ddala tusobola okumanya ekituufu ku nsonga eyo?

Amadiini mangi gayigiriza nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu. Abantu b’enzikiriza ezisinga obungi, gamba ng’Abakristaayo, Abahindu, Abayudaaya, Abasiraamu, n’abalala, bakkiriza nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu, era nti gugenda mu ggulu, oba mu muliro, oba mu kifo ekirala. Ate bo ab’enzikiriza ya Bbuda bakkiriza nti omuntu bw’afa agenda afuukafuuka okutuusa lw’atuuka mu mbeera ey’okwesiima eyitibwa Nirvana.

Ekyo kiviiriddeko abantu abasinga obungi okulowooza nti omuntu bw’afa, aba tafiiridde ddala. Bwe kityo abamu balowooza nti okufa nteekateeka ya Katonda esobozesa omuntu okuva mu bulamu buno n’agenda mu bulamu obulala. Bayibuli eyogera ki ku nsonga eyo? Tukukubiriza okusoma ekitundu ekiddako. Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo kijja kukwewuunyisa.