OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 3 2019 | Ddala Obulamu Bulina Kuba Bwe Buti?

Ekibuuzo ekyo buli muntu akyebuuza, era eky’okuddamu omuntu ky’akkirirza kijja ku kwata nnyo ku bulamu bwe.

Okufa Tekwewalika

Ne bwe tufuba tutya tetusobola kwewala kukaddiwa na kufa. Ddala obulamu bulina kuba bwe buti?

Okunoonya Obuwangaazi

Bannassaayansi abamu bagezaako okunoonya ekinaayamba abantu obutakaddiwa. Biki ebivudde mu kunoonyereza kwabwe?

Twatondebwa Kubeerawo Emirembe Gyonna

Ani ku ffe atayagala kuba na bulamu butaggwaawo ate nga bwa ssanyu?

Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?

Katonda teyatonda bantu nga ba kukaddiwa na kufa. Bazadde baffe abaasooka baatondebwa nga batuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri; bandibadde bakyali balamu okutuusa leero.

Okufa Kunaggibwawo Kutya?

Katonda yakola enteekateeka okununula abantu okuva mu kibi n’okufa ng’awaayo ekinunulo.

Oyinza Otya Okuba n’Obulamu Obulungi?

Waliwo “ekkubo” ly’olina okutambuliramu okusobola okuba mu bulamu Katonda bw’ateekerateekera abo abamwagala.

Kisoboka Okuba Omusanyufu mu Kiseera Kino

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola gatya okukuyamba okuba omumativu, okunyweza obufumbo bwo, oba okugumira obulwadde?

Abafu Baliddamu Okuba Abalamu?

Bayibuli etuwa eky’okuddamu.