Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Buli mu Nsi Yonna

Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Buli mu Nsi Yonna

“Buli kiseera mbaamu n’okweraliikirira ne bwe mba nga ndi nzekka.”

“Bwe mpulira nga ndi musanyufu nnyo, ntandika okweraliikirira. Mba nkimanyi nti ekiddirira, ŋŋenda ‘kwennyamira.’”

“Nfuba okulaba ng’ebirowooza byange mbissa ku bintu ebibaawo mu lunaku, naye oluusi nneesanga nga nneeraliikirira ebintu ebirala bingi.”

Ebigambo ebyo byayogerwa abantu abalina obulwadde obukosa ebirowoozo. Naawe olina obulwadde obwo, oba waliwo omuntu wo alina obulwadde obwo?

Bwe kiba kityo, ba mukakafu nti toli wekka. Abantu bangi leero batawanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo, oba balina abantu baabwe abalina obulwadde obwo.

Kya lwatu nti ‘ekiseera kye tulimu kizibu nnyo’ era twolekagana n’ebizibu bingi ebituleetera obulumi. (2 Timoseewo 3:1) Okunoonyereza okumu kwalaga nti okwetooloola ensi, omuntu omu ku buli bantu munaana alina obulwadde obukosa ebirowoozo. Olw’ekirwadde kya COVID-19, mu 2020 omuwendo gw’abantu abaali batawaanyizibwa ekizibu ky’okweraliikirira ennyo gweyongerako ebintu 26 ku buli kikumi. Ate omuwendo gw’abantu abaalina ekizibu ky’okwekyawa gweyongerako ebitundu 28 ku buli kikumi.

Naye ekikulu si kwe kumanya omuwendo gw’abantu abalina obulwadde obukosa ebirowoozo, wabula kwe kumanya ekyo ggwe oba omwagalwa wo kye muyinza okukola okukendeeza oba okuvvuunuka ekizibu ekyo.

Kitegeeza ki okuba omulamu obulungi mu birowoozo?

Omuntu omulamu obulungi mu birowoozo aba asobola okwaŋŋanga ebintu ebyeraliikiriza, aba okola bulungi emirimu gye, era aba mumativu n’embeera gy’alimu.

Obulwadde obukosa ebirowoozo . . .

  • TEBUVA ku bunafu omuntu bw’aba nabwo.

  • BULEETERA omuntu okuba omunakuwavu ennyo era bukosa endowooza ye, enneewulira ye, ne nneeyisa ye.

  • Emirundi mingi buleetera omuntu okuzibuwalirwa okukolagana n’abalala n’okukola emirimu.

  • Bukwata abantu ab’emyaka egy’enjawulo, aba langi ez’enjawulo, ab’amawanga ag’enjawulo, ab’ennimi ez’enjawulo, abayivu n’abatali bayivu, abagagga n’abaavu.

Ebiyinza okuyamba abo abatawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo

Oluusi omuntu ayinza okutandika okweyisa mu ngeri etali ya bulijjo, gamba ng’okwebaka ennyo oba obuteebaka kimala, okulya ennyo oba okulyako akatono, oba atandika okweraliikirira ennyo oba okuba omunakuwavu buli kiseera. Ekyo bwe kibaawo, omuntu oyo aba yeetaaga okulaba omusawo omukugu amuyambe okumanya ekiba kiviiriddeko enkyukakyuka eyo era n’engeri y’okugonjoolamu ekizibu ekyo. Naye wa w’ayinza okufuna obuyambi?

Yesu Kristo yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” (Matayo 9:12) Abo abatawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo bwe bafuna obujjanjabi obutuufu, baba tebatawaanyizibwa nnyo bulwadde bwabwe. Ekyo kibayamba okuba nga basobola okukola emirimu gyabwe egya bulijjo n’okuba abasanyufu. N’olwekyo singa omuntu afuna obubonero bw’obulwadde obwo oba singa aba n’obubonero obwo okumala ekiseera ekiwanvu, kiba kya magezi okufuna obujjanjabi mu bwangu. a

Wadde Bayibuli si kitabo kya bya bujjanjabi, amagezi agagirimu gasobola okutuyamba bwe tuba nga tulina obulwadde obukosa ebirowoozo. Tukukubiriza okusoma ebitundu ebiddako ebiraga engeri Bayibuli gy’esobola okuyamba omuntu bw’aba ng’atawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo.

a Omunaala gw’Omukuumi tegulina nzijanjaba yonna gye gusalirawo muntu kufuna. Buli muntu asaanidde okwesalirawo bujjanjabi bwa ngeri ki bw’asaanidde okufuna.