Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1 Etuyamba Okwewala Ebizibu

1 Etuyamba Okwewala Ebizibu

Bayibuli egamba nti obulagirizi obugirimu bwaluŋŋamizibwa Katonda era bugasa “mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu.” (2 Timoseewo 3:16) Ddala ekyo kituufu? Ka tulabe engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gayambye abantu okwewala ebizibu eby’amaanyi.

OKUNYWA ENNYO OMWENGE

Delphine, ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko yagamba nti ebizibu bye yalina byali bimuleetedde okunywa ennyo omwenge. Bayibuli tegaana kunywa mwenge gwa kigero, naye egamba nti: “Tobanga mu abo abeekamirira omwenge.” (Engero 23:20) Okunywa ennyo omwenge kiviiriddeko abantu okufuna endwadde, obufumbo okusasika, era n’abantu bangi okufa amangu. Ebizibu ebyo byandibadde byewalibwa singa abantu bakolera ku magezi agali mu Bayibuli.

Ekyo kyennyini Delphine kye yakola. Agamba nti: “Nnakitegeera nti okunywa omwenge kwali tekuggyaawo binneeraliikiriza. Nnakolera ku magezi agali mu Abafiripi 4:6, 7, awagamba nti: ‘Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye . . . mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.’ Buli kiro bwe nnawuliranga ng’ebirowoozo bimpitiriddeko, nnasabanga Yakuwa. Nnamubuuliranga byonna ebyandi ku mutima, gamba ng’okuwulira obusungu, obulumi, okuwulira nga siri wa mugaso, era ne mmwegayirira annyambe nneme kuddamu kubirowoozaako nsobole okuwulira obulungi. Ku makya nnafubanga okulaba nti siddamu kubirowoozaako. Okusabanga Katonda kyannyamba okussa ebirowoozo byange ku ebyo bye nnalina, so si ku ebyo bye saalina. Nnasalawo okuviira ddala ku mwenge. Olw’okuba nnafuna emirembe mingi mu mutima, nnali siyinza kukkiriza kintu kyonna kummalako mirembe egyo.”

EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU

Obugwenyufu kye kimu ku bintu ebiviirako abantu okufuna ebizibu eby’amaanyi. Naye bwe tugoberera amagezi agali mu Bayibuli, tusobola okwewala ebintu ebitera okuvaako ebizibu ebyo, gamba ng’okuzannyirira n’omuntu atali wa kikula kyo, oba okulaba eby’obuseegu. Omuvubuka ayitibwa Samuel agamba nti: “Kyali kyangu nnyo okuzannyirira n’omuntu atali wa kikula kyange. Oluusi nnabanga seegwanyiza muntu naye nga nsobola okumanya nti ye anneegwanyiza, awo ne kinnyanguyira okuzannyirira naye.” Samuel baamugambanga nti yali azannyirira nnyo n’abawala, wadde ng’oluusi yabanga takigenderedde, era oluvannyuma yasalawo okukikola mu bugenderevu. Naye omuze ogwo gwamuviirako okulumizibwa mu mutima. Kati agamba nti: “Omuze ogwo mubi nnyo kubanga guleetera omuntu okwefaako yekka.”

Samuel yasoma ekitundu ekikwata ku bavubuka ku mukutu gwa Intaneeti ogwa jw.org. Era yafumiitiriza ku Engero 20:11, awagamba nti: “Omwana [oba, “omulenzi,” obugambo obuli wansi] by’akola bye biraga ki ky’ali, obanga empisa ze nnongoofu era nga nnungi.” Ekyo kyamuyamba kitya? Samuel yakizuula nti okuzannyirira n’abawala tekyali kirungi. Agamba nti: “Era nnayiga nti abavubuka abazannyirira n’abo abatali ba kikula kyabwe baba bafunye omuze ogujja okubalemesa obufumbo. Nnatandika okulowooza ku ngeri omukyala gwe ndiwasa gy’aliwuliramu ng’andaba nzannyirira n’abakazi abalala. Ekyo kyannyamba okukiraba nti omuze ogwo gwa bulabe nnyo. Eky’okuba nti kyangu okukola, tekikifuula kituufu.” Samuel yasobola okuleka omuze ogwo. Okwewala okuzannyirira n’abawala kimuyambye n’okwewala ebikolwa eby’obuseegu.

Antonio ye yali yeetadde mu mbeera eyali eneetera okumuviirako okugwa mu bwenzi. Yalina omuze ogw’okulaba eby’obuseegu. Wadde yali ayagala nnyo mukyala we, yeesanganga nga yeenyigidde mu muze ogwo enfunda n’enfunda. Agamba nti okufumiitiriza ku bigambo ebiri mu 1 Peetero 5:8 kyamuyamba nnyo. Wagamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala. Omulabe wammwe Omulyolyomi atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” Antonio agamba nti: “Ebintu eby’obuseegu biri buli wamu, ate bw’obiraba, tebiva mu bwongo. Ekyawandiikibwa ekyo kyannyamba okutegeera ensibuko y’ebikemo bye nnali nfuna. Nnalina okujjukiranga amangu nti eby’obuseegu biva eri Sitaani. Kati nkimanyi nti Yakuwa yekka y’asobola okunnyamba ‘okubeera nga ntegeera bulungi era nga ndi bulindaala’ nsobole okwewala ebintu ebisobola okwonoona ebirowoozo byange, omutima gwange, era n’obufumbo bwange.” Antonio yafuna obuyambi n’asobola okuleka omuze ogwo. Era ekyo kimuyambye okwewala ebizibu ebirala bingi.

Awatali kubuusabuusa, Bayibuli erimu amagezi agasobola okutuyamba okwewala ebizibu. Ate byo ebizibu bye twafuna edda, era nga birabika ng’ebigaanye okuvaawo? Ka tulabe engeri Ekigambo kya Katonda gye kisobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu ng’ebyo.

Bayibuli esobola okutuyamba okwewala ebizibu ebimu