Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ssebutemba 9-15

ABEBBULANIYA 9-10

Ssebutemba 9-15
  • Oluyimba 10 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Ekisiikirize ky’Ebintu Ebirungi Ebigenda Okujja”: (Ddak. 10)

    • Beb 9:12-14​—Omusaayi gwa Kristo gwa muwendo nnyo okusinga ogw’embuzi n’ogw’ente ennume (it-1-E lup. 862 ¶1)

    • Beb 9:24-26​—Kristo yawaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye eri Katonda omulundi gumu (cf-E lup. 183 ¶4)

    • Beb 10:1-4​—Amateeka gaali kisiikirize ky’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja (it-2-E lup. 602-603)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Beb 9:16, 17​—Ebiri mu nnyiriri zino birina makulu ki? (w92-E 3/1 lup. 31 ¶4-6)

    • Beb 10:5-7​—Yesu yayogera ddi ebigambo ebiri mu nnyiriri zino, era yali ategeeza ki? (it-1-E lup. 249-250)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Beb 9:1-14 (th essomo 5)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 2)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe kaadi eragirira abantu ku jw.org. (th essomo 11)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 89

  • Enkuŋŋaana Zaffe Tuzitwala nga Nkulu? (Zb 27:11): (Ddak. 12) Mulabe vidiyo, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

    • Bintu ki Yesu, Kabona waffe Asinga Obukulu by’akola ebituganyula?

    • Ngeri ki essatu ze tuyinza okulagamu nti tusiima ebyo by’atukolera?

  • Ssaayo Omwoyo ng’Oli mu Nkuŋŋaana: (Ddak. 3) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma saba abaana boogere ensonga lwaki basaanidde okussaayo omwoyo nga bali mu nkuŋŋaana.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 83

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 108 n’Okusaba