OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Ssebutemba 2016
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Omunaala gw’Omukuumi, n’okubuulira amazima agali mu Bayibuli agalaga nti Katonda atufaako. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’
Kitegeeza ki okutambulira mu mateeka ga Yakuwa? Omuwandiisi wa Zabbuli 119 kyakulabirako kirungi gye tuli leero.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza
Engeri y’okuddamu omwana n’okulaga nti tuwa bazadde be ekitiibwa.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obuyambi Bwange Buva eri Yakuwa”
Zabbuli 121 ekozesa olulimi olw’akabonera okulaga engeri Yakuwa gy’akuumamu abantu be.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Twakolebwa mu Ngeri ey’Ekitalo
Mu Zabbuli 139, Dawudi atendereza Yakuwa olw’engeri ey’ekitalo gye yatondamu ebintu.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli
Bwe tuba twagala okutuuka ku mutima gw’omuyizi wa Bayibuli, biki bye tusaanidde okwewala?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Mukulu era y’Agwanidde Okutenderezebwa Ennyo”
Mu Zabbuli 145 Dawudi yalaga nti yali asiima engeri Yakuwa gy’alabiriramu abaweereza be abeesigwa.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukubiriza Abantu Okujja mu Nkuŋŋaana
Abantu abasiima obubaka bwaffe n’abayizi ba Bayibuli bakulaakulana mangu mu by’omwoyo bwe batandika okujja mu nkuŋŋaana.