Ababuulizi nga bayita abantu mu nkuŋŋaana

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Okitobba 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula z’okukozesa nga tugaba Zuukuka!, obupapula obuyita abantu mu nkuŋŋaana, okubuulira amazima agakwata ku kituuka ku muntu ng’afudde. Tegeka ennyanjula eyiyo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Weesige Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna”

Engero essuula 3 etukakasa nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa bwe tunaamwesiga n’omutima gwaffe gwonna. Oyinza otya okumanya obanga weesiga Yakuwa n’omutima gwo gwonna?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

‘Temukkiriza Mitima Gyammwe Kutwalirizibwa”

Engero 7 ennyonnyola engeri omuvubuka gye yakola ekibi oluvannyuma lw’omutima gwe okutwalirizibwa okuva ku mitindo gya Yakuwa. Kiki kye tuyigira ku nsobi ye?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Amagezi Gasinga Zzaabu

Engero essuula 16 egamba nti kiba kirungi okufuna amagezi okusinga zzaabu. Lwaki amagezi agava eri Katonda gamuganyulo nnyo?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okuddamu Obulungi mu Nkuŋŋaana

Omuntu bw’addamu obulungi mu nkuŋŋaana aganyulwa era n’ekibiina kyonna kiganyulwa. Eky’okuddamu ekirungi kisaanidde kuba kitya?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Noonya Emirembe

Abantu ba Yakuwa bakolagana bulungi. Wadde nga bafuna obutategeeragana, bakolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda ne basobola okuzzaawo emirembe.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Yigiriza Omwana Ekkubo ly’Asaanidde Okutambuliramu”

Lwaki kyetaagisa okukangavvula abaana? Engero 22 erimu amagezi agasobola okuyamba abazadde.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okozesa Kaadi Eziragirira Abantu ku Mukutu JW.ORG?

Buli lw’oba ofunye akakisa, kozesa kaadi zino okuyamba abantu okuyiga Bayibuli n’okubalagirira ku mukutu gwaffe.