Olukuŋŋaana olunene mu kibuga Vienna, Austria

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Jjulaayi 2018

Bye Tuyinza Okwogerako

Eby’okwogerako ebikwata ku ngeri emisingi gya Bayibuli gye giyinza okuyamba amaka.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Ekipimo Kye Mukozesa Okupimira Abalala . . .

Omuntu omugabi aba musanyufu okukozesa ebintu bye okuyamba abalala.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okuba Omugoberezi wa Yesu Kyetaagisa Ki?

Kiki kye tusaanidde okukola singa tutandika okulowooza ku ‘mbeera ennungi’ gye twalimu emabega?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Olugero lw’Omusamaliya Omulungi

Abagoberezi ba Yesu basaanidde okwagala abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okuba ab’enjawulo ennyo ku bo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Lwaki Kikulu Nnyo Obutabaako Ludda Lwe Tuwagira mu by’Obufuzi? (Mik 4:2)

Bwe tukolera bonna ebirungi, tuba tukoppa Katonda waffe.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Muli Ba Muwendo Nnyo Okusinga Enkazaluggya Ennyingi”

Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku abo abayigganyizibwa nga Yakuwa bw’abafaako?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Olugero lw’Omwana Eyali Azaaye

Olugero lw’omwana eyali azaaye lutuyigiriza ki ku kwoleka amagezi, obuwombeefu, n’okwesiga Yakuwa?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Eyali Azaaye Akomyewo

Byakuyiga ki ebiri mu vidiyo eno?