Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 25-26

Pawulo Ajulira Kayisaali era Oluvannyuma Abuulira Kabaka Agulipa

Pawulo Ajulira Kayisaali era Oluvannyuma Abuulira Kabaka Agulipa

25:11; 26:1-3, 28

Wadde nga tetusaanidde kweraliikirira kye tunaayogera nga ‘tutwaliddwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka,’ tusaanidde ‘okuba abeetegefu okuddamu buli muntu atubuuza ebikwata ku ssuubi lyaffe.’ (Mat 10:18-20; 1Pe 3:15) Singa abatuyiggganya bagezaako okutuleetera ‘emitawaana nga beeyambisa amateeka,’ tuyinza tutya okukoppa Pawulo?​—Zb 94:20.

  • Tukozesa eddembe lye tulina mu mateeka okulwanirira amawulire amalungi.​—Bik 25:11

  • Tuwa ab’obuyinza ekitiibwa bwe tuba twogera nabo.​—Bik 26:2, 3

  • Bwe kiba kituukirawo, tunnyonnyola engeri amawulire amalungi gye gatuganyuddemu awamu n’abalala.​—Bik 26:11-20