Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba mu Buweereza

Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba mu Buweereza

Okuva mu Jjanwali 2016, ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna kufulumirako ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?” Ekitundu kino ekipya kyategekebwa okutuyamba okutandika okukubaganya n’abantu ebirowoozo ku Bayibuli. Kyategekebwa mu ngeri efaananako n’eya tulakiti zaffe. Kirimu ekibuuzo n’eky’okuddamu ekyesigamiziddwa ku byawandiikibwa, era n’ensonga endala ez’okukubaganyaako ebirowoozo.

Bwe twogera obulungi n’abantu nga tukozesa ebyawandiikibwa, batera okufuuka abayizi ba Bayibuli. Kozesa ekitundu kino ekipya okuyamba abantu abalina ennyonta ey’eby’omwoyo.Mat 5:6.

ENGERI Y’OKUKOZESAAMU EKITUNDU EKYO:

  1. Saba omuntu akuwe endowooza ye ku kimu ku bibuuzo ebiri mu kitundu ekyo

  2. Muwulirize era omusiime olw’ekyo ky’aba azzeemu

  3. Soma ekyawandiikibwa ekiri wansi w’omutwe, “Bayibuli ky’Egamba,” era omusabe akuwe endowooza ye ku kyawandiikibwa ekyo. Bw’aba alina obudde, mweyongere okukubaganya ebirowoozo nga mukozesa ebyo ebiri wansi w’omutwe, “Biki Ebirala Bye Tuyiga mu Bayibuli?”

  4. Muwe magazini

  5. Kola enteekateeka okuddayo oddemu ekibuuzo eky’okubiri