Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 106-109

“Mwebaze Yakuwa”

“Mwebaze Yakuwa”

Lwaki Abayisirayiri beerabira mangu ebikolwa bya Yakuwa eby’obulokozi?

106:7, 13, 14

  • Ebirowoozo byabwe baabiggya ku Yakuwa ne babissa ku byetaago byabwe eby’omubiri

106:1-5

 

Oyinza otya okukulaakulanya omutima ogusiima era n’osigala ng’ogulina?

  • Ebirowoozo byo bisse ku bintu ebirungi Yakuwa by’akukolera

  • Fumiitiriza ku ssuubi ly’ebiseera eby’omu maaso

  • Bw’oba osaba Yakuwa, mwebaze ebyo byennyini by’akukoledde