Yigira ku Muyigiriza Omukulu

Bayibuli erimu amagezi agasingayo obulungi. Abaana basobola okuyiga ebintu Kitabwe ow’omu ggulu by’abagamba so si ebyo abantu bye bagamba.

Abaana Bye Beetaaga Okuva eri Abazadde

Ekitabo kino kyategebwa mu ngeri esobozesa abaana okunyumya n’abo ababayigiriza, era kirimu ebintu ebirungi bingi abaana bye basobola okuyiga.

ESSUULA 1

Ensonga Lwaki Yesu Yali Muyigiriza Mukulu

Biki Yesu bye yayigirizanga? Ebyo bye yayigira yabiggya wa?

ESSUULA 2

Ebbaluwa Okuva eri Katonda ow’Okwagala

Ebbaluwa ye esangibwa mu kitabo eky’omuwendo ennyo okusinga ebirala byonna.

ESSUULA 3

Oyo Eyakola Ebintu Byonna

Ani yatonda ebinyonyi era n’abiyigiriza okuyimba? Ani yatonda omuddo? Ani yakutonda?

ESSUULA 4

Katonda Alina Erinnya

Ffenna tulina amannya. Omanyi erinnya lya Katonda? Lwaki kikulu okumanya erinnya lye?

ESSUULA 5

“Ono Ye Mwana Wange”

Lwaki Yesu yali mwana wa njawulo?

ESSUULA 6

Omuyigiriza Omukulu Yaweerezanga Abalala

Owulira bulungi ng’omuntu omulala okukoledde ekintu ekirungi? Ffenna bwe tutyo bwe tuwulira, era n’omuyigiriza omukulu ekyo yali akimanyi.

ESSUULA 7

Obuwulize Bukukuuma

Abaana bato basobola okuyigira ku bantu abakulu. Era Katonda bw’atugamba okukola ekintu, tuba bakakafu nti kye kituufu okukola.

ESSUULA 8

Abalala Batusinga

Abamu balungi, abalala babi.

ESSUULA 9

Tulina Okuziyiza Ebikemo

Kiki ky’osaanidde okukola singa omuntu akugamba okukola ekintu ekibi?

ESSUULA 10

Yesu Asinga Badayimooni Amaanyi

Tetusaanidde kutya badayimooni, naye tusaanidde okwegendereza baleme kutulimbalimba.

ESSUULA 11

Obuyambi Okuva eri Bamalayika ba Katonda

Engeri bamalayika gye bayambamu abantu abaagala Yakuwa era abamuweereza.

ESSUULA 12

Yesu Atuyigiriza Okusaba

Osobola okwogera ne Katonda ekiseera kyonna emisana oba ekiro, era ajja kukuwuliriza.

ESSUULA 13

Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu

Baali bantu ba ngeri ki?

ESSUULA 14

Ensonga Lwaki Tusaanidde Okusonyiwa

Yesu atubuulira olugero olutuyamba okutegeera ensonga.

ESSUULA 15

Kye Tuyigira ku Kuba ab’Ekisa

Yigira ku lugero lw’Omusamaliya ow’ekisa.

ESSUULA 16

Kiki Ekisinga Obukulu?

Tuyinza tutya okuba abagagga eri Katonda?

ESSUULA 17

Ekisobola Okukuleetera Essanyu

Omuyigiriza Omukulu atubuulira ekireeta essanyu.

ESSUULA 18

Ojjukira Okwebaza?

Osobola okuyigira ku kyo’okulabirako ky’abagenge ekkumi.

ESSUULA 19

Kirungi Okulwana?

Kiki ky’osaanidde okukola ng’abalala batandise okulwana?

ESSUULA 20

Bulijjo Oyagala Okuba nga Ggwe Asooka?

Kiki Yesu kye yagamba abayigirizwa be bwe baali bakaayana ku nsonga eno?

ESSUULA 21

Waliwo Ekintu Kyonna Ekyandituleetedde Okwewaana

Yesu agera olugero lw’Omufalisaayo n’omusolooza w’omusolo.

ESSUULA 22

Lwaki Tetusaanidde Kulimba?

Laba Yakuwa kye yakola Ananiya ne Safira.

ESSUULA 23

Ensonga Lwaki Abantu Balwala

Ekiseera kirituuka abantu ne baba nga tebalwala?

ESSUULA 24

Tofuukanga Mubbi!

Laba ebyokulabirako by’abantu bana abaatwala ebintu ebitaali byabwe.

ESSUULA 25

Abo Abakola Ebintu Ebibi Basobola Okukyuka?

Tulina kye tuyigira ku Sawulo n’omukazi eyali malaaya.

ESSUULA 26

Lwaki Kizibu nnyo Okukola Ekirungi

Abantu banaakola ki bw’onoogaana okukola kye baagala okole?

ESSUULA 27

Katonda Wo y’Ani?

Abantu basinza bakatonda bangi. Ggwe onookola ki? Abavubuka Abebbulaniya basatu batulaga eky’okukola.

ESSUULA 28

Ani Gwe Tusaanidde Okugondera

“Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”

ESSUULA 29

Embaga Zonna Zisanyusa Katonda?

Obadde okimanyi nti Bayibuli eyogera ku mbaga eziwerako? Tusobola okumanya ky’alowooza ku mbaga ezo.

ESSUULA 30

Ekituyamba Okuggwaamu Okutya

Omuyigiriza Omukulu teyagamba nti kyandibadde kyangu okuweereza Yakuwa.

ESSUULA 31

Ani Ayinza Okutubudaabuda

Kiki ky’osaanidde okukola ng’ofunye ekikweraliikiriza?

ESSUULA 32

Engeri Yesu Gye Yakuumibwamu

Soma ku ngeri Yakuwa gye yakuumamu Yesu ng’abantu baagala okutuusako akabi ng’akyali muto.

ESSUULA 33

Yesu Asobola Okutukuuma

Yesu bwe yali ku nsi yakiraga nti asobola okukuuma abo abamwagala.

ESSUULA 34

Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?

Wanditidde okufa oba abantu abaafa?

ESSUULA 35

Tusobola Okuzuukira!

Katonda yawa Yesu amaanyi okuzuukiza abantu, nga mw’otwaliddde n’abaana abato

ESSUULA 36

Baani Abalizuukizibwa? Balibeera Wa?

Yesu yayogera ki ku nsonga eyo?

ESSUULA 37

Okujjukira Yakuwa n’Omwana We

Yesu yatulaga engeri y’okujjukira ye ne Yakuwa kye baatukolera.

ESSUULA 38

Ensonga Lwaki Tusaanidde Okwagala Yesu

Yawaayo obulamu bwe tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.

ESSUULA 39

Katonda Azuukiza Omwana We

Yesu yazuukizibwa.

ESSUULA 40

Engeri y’Okusanyusaamu Katonda

Olugero lw’omu Bayibuli luganba nti “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange.”

ESSUULA 41

Abaana Abasanyusa Katonda

Bintu ki ebisanysa Katonda by’oyinza okukola?

ESSUULA 42

Ensonga Lwaki Tusaanidde Okukola

Okukola kiganyula emibiri gyaffe n’obwongo bwaffe. Osobola okuyiga okunyumirwa okukola emirimu.

ESSUULA 43

Baganda Baffe ne Bannyinaffe be Baani?

muzingirwaamu n’abo abatali baana ba bazadde baffe?

ESSUULA 44

Mikwano Gyaffe Gisaanidde Okwagala Katonda

“Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”

ESSUULA 45

Obwakabaka bwa Katnda Kye ki? Tulaga Tutya Nti Tubwagala?

Yesu bw’anaaba nga y’afuga ensi, ajja kuleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi.

ESSUULA 46

Amazzi Gaasanyaawo Ensi-Kiribaawo Nate?

Abatuukirivu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna.

ESSUULA 47

Tumanya Tutya Nti Kalumagedoni Ali Kumpi?

Obubonero tubulaba.

ESSUULA 48

Osobola Okubeera mu Nsi ya Katonda Empya ey’Emirembe

Olina kukola ki okusobola okubeerayo emirembe gyonna?