Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olusuku lwa Katonda Oluppya ku Nsi

Olusuku lwa Katonda Oluppya ku Nsi

OLUGERO 115

Olusuku lwa Katonda Oluppya ku Nsi

LABA emiti egyo emiwanvu, ebimuli ebifaanana obulungi era n’ensozi empanvu. Ekifo kino tekirabika bulungi? Laba engabi bw’eriira mu kibatu ky’omulenzi. Era laba empologoma n’embalaasi eziri ku muddo. Tewandyagadde okubeera mu nnyumba eri mu kifo nga kino?

Katonda ayagala obeere mu lusuku lwe ku nsi emirembe gyonna. Era tayagala oboneebone ng’abantu bwe babonaabona leero. Kino kye kisuubizo kya Baibuli eri bonna abalibeera mu lusuku lwa Katonda oluppya: ‘Katonda alibeera nabo. Okufa, okukaaba n’okulumwa tebiribeerawo nate. Eby’olubereberye biweddewo.’

Yesu ajja kukakasa nti enkyukakyuka eno ey’ekitalo ebaawo. Omanyi ddi? Yee, oluvannyuma lw’okuggyawo obubi bwonna ku nsi era n’abantu ababi. Jjukira nti Yesu bwe yali ku nsi, yawonya abantu obulwadde obwa buli kika era n’azuukiza n’abafu. Yesu yakola bino okulaga by’alikola mu nsi yonna ng’afuuse Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.

Teeberezaamu bwe kiribeera mu lusuku lwa Katonda oluppya ku nsi! Yesu, awamu n’abo b’alironda, bajja kuba bafuga mu ggulu. Abafuzi bano bajja kulabirira buli omu ku nsi era bakakase nti basanyufu. Ka tulabe kye twetaaga okukola okukakasa nti Katonda ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwe oluppya.

Okubikkulirwa 21:3, 4; 5:9, 10; 14:1-3.

Ebibuuzo