Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mbamanyisizza Erinnya Lyo”

“Mbamanyisizza Erinnya Lyo”

“Mbamanyisizza Erinnya Lyo”

“Erinnya lyo ndimanyisizza eri abantu be wampa mu nsi. . . . Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa.”​—YOKAANA 17:6, 26.

Kye Kitegeeza: Yesu yamanyisa abalala erinnya lya Katonda ng’alikozesa mu buweereza bwe. N’olwekyo Yesu bwe yasomanga ebyawandiikibwa, awatali kubuusabuusa, yayatulanga erinnya lya Katonda. (Lukka 4:16-21) Yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe, erinnya lyo litukuzibwe.”​—Lukka 11:2.

Abakristaayo Abaasooka Baakozesanga Erinnya lya Katonda: Omutume Peetero yagamba abakadde mu Yerusaalemi nti Katonda yali aggye mu mawanga “abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.” (Ebikolwa 15:14) Abatume n’abalala baagamba abantu nti “buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Ebikolwa 2:21; Abaruumi 10:13) Ate era baakozesa erinnya lya Katonda mu bitabo bya Bayibuli bye baawandiika. Ekitabo ekimu eky’edda ekirimu amateeka g’Abayudaaya kigamba nti abo abaali bayigganya Abakristaayo baayokya ebitabo ebyawandiikibwa Abakristaayo, gamba ng’ebitabo by’Enjiri, . . . wadde ng’ebitabo ebyo byalimu erinnya lya Katonda.”

Baani Leero Abakozesa Erinnya lya Katonda? Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Revised Standard Version egamba bw’eti mu nnyanjula yaayo: “Kikyamu amakanisa g’Abakristaayo okukozesa erinnya lya Katonda omu ow’amazima kubanga kiba ng’ekiraga nti eriyo bakatonda abalala, era nti kyetaagisa okumwawulawo ku bakatonda abo.” Bwe kityo mu nkyusa ya Bayibuli eyo, awandibadde erinnya lya Katonda baateekawo ekigambo, “MUKAMA.” Ate emabegako awo, ekiragiro kyafuluma okuva mu Vatican nga kiragira abakulembeze b’eddiini y’Abakatuluki “obutakozesa linnya lya Katonda * mu nnyimba ne mu ssaala.”

Baani leero abakozesa erinnya lya Katonda era abalimanyisa abalala? Sergey abeera mu Kyrgyzstan, bwe yali nga wa myaka 15, yalaba vidiyo eyali eraga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Waayita emyaka kkumi nga tazzeemu kuwulira linnya lya Katonda. Oluvannyuma, Sergey bwe yali ng’asengukidde mu Amerika, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baamukyalira era ne bamulaga erinnya lya Katonda mu Bayibuli. Yasanyuka nnyo okuzuula abantu abakozesa erinnya lya Katonda. Enkuluze emu egamba nti: “Yakuwa ye Katonda asingiridde, era ye Katonda yekka Abajulirwa ba Yakuwa gwe basinza.”

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 5 Mu Luganda, erinnya lya Katonda lyavvuunulwa nti “Yakuwa.”