Tracts and Invitations

Wandyagaddde Okumanya Amazima?

Luganda
Wandyagaddde Okumanya Amazima?
https://cms-imgp.jw-cdn.org/img/p/1102008390/univ/art/1102008390_univ_sqr_xl.jpg
kt lup. 1-4

Wandyagadde Okumanya Amazima?

Wandyagadde Okumanya Amazima?

Amazima agakwata ku ki? Agakwata ku bimu ku bibuuzo ebisingayo obukulu abantu bye baali beebuuzizza. Oboolyawo wali weebuuzizzaako ebibuuzo nga bino:

  • Ddala Katonda atufaako?

  • Entalo n’okubonaabona biriggwaawo?

  • Kiki ekitutuukako bwe tufa?

  • Waliwo essuubi lyonna nti abafu baliddamu okuba abalamu?

  • Nnyinza kusaba ntya okusobola okuwulirwa Katonda?

  • Nnyinza ntya okufuna essanyu mu bulamu?

Eby’okuddamu mu bibuuzo bino oyinza kubisanga wa? Bw’ogenda mu materekero g’ebitabo, oyinza okusangayo ebitabo bingi nnyo abantu bye balowooza nti bisobola okuddamu ebibuuzo bino, kyokka emirundi mingi biba bikontana. Ebimu bibaamu eby’okuddamu ebirabika ng’ebirungi, kyokka mangu ddala biva ku mulembe era ne biddamu okulongoosebwamu oba ne wawandiikibwayo ebirala.

Wadde kiri kityo, waliwo ekitabo kimu ekirimu eby’okuddamu ebyesigika. Ky’ekitabo ekyogera amazima. Yesu Kristo bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Leero, Ekigambo ekyo kimanyiddwa nga Baibuli Entukuvu. Ku mpapula eziddirira, ojja kufuna ebimu ku by’okuddamu ebituufu era ebitegeerekeka obulungi Baibuli by’ewa mu bibuuzo ebyo waggulu.

Ddala Katonda Atufaako?

ENSONGA LWAKI ABANTU BEEBUUZA EKIBUUZO KINO: Ensi gye tulimu ejjudde ebikolwa eby’obukambwe n’obutali bwenkanya. Amadiini mangi gayigiriza nti Katonda y’atuleetera okubonaabona.

EKYO BAIBULI KY’EYIGIRIZA: Katonda tasobola kuleetawo kintu kibi. Yobu 34:10 lugamba bwe luti: “Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi; n’awali Omuyinza w’ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu.” Katonda alina ekigendererwa ekirungi eri abantu. Eno y’ensonga lwaki Yesu yatuyigiriza okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, . . . Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:​9, 10) Mazima ddala Katonda atufaako nnyo, era eno ye nsonga lwaki yakola kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.​—Yokaana 3:​16.

Laba ne Olubereberye 1:​26-​28; Yakobo 1:13; ne 1 Peetero 5:​6, 7.

Entalo n’Okubonaabona Biriggwaawo?

ENSONGA LWAKI ABANTU BEEBUUZA EKIBUUZO KINO: Abantu bangi nnyo bakyeyongera okufiira mu ntalo, era ffenna tubonaabona mu ngeri emu oba endala.

EKYO BAIBULI KY’EYIGIRIZA: Katonda atutegeeza nti mu biseera eby’omu maaso ajja kuleeta emirembe mu nsi yonna. Wansi w’Obwakabaka bwe obw’omu ggulu, abantu “tebaliyiga kulwana nate.” Mu kifo ky’ekyo, “baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi.” (Isaaya 2:4) Katonda ajja kuggyawo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya. Baibuli essuubiza bw’eti: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye [nga mw’otwalidde okubonaabona n’obutali bwenkanya ebiriwo leero] biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:​3, 4.

Laba ne Zabbuli 37:10, 11; 46:9; ne Mikka 4:​1-4.

Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?

ENSONGA LWAKI ABANTU BEEBUUZA EKIBUUZO KINO: Amadiini agasinga obungi mu nsi gayigiriza nti omuntu bw’afa, waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu. Agamu gayigiriza nti abafu basobola okulumya abalamu oba nti Katonda abonereza ababi ng’abookya mu muliro ogutazikira.

EKYO BAIBULI KY’EYIGIRIZA: Abantu bwe bafa, baba tebakyaliwo. Omubuulizi 9:5 lugamba nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.” Okuva bwe kiri nti abafu tebaliiko kye bamanyi era nga tebasobola kuwulira wadde okukola ekintu kyonna, tebasobola kulumya balamu wadde okubayamba.​—Zabbuli 146:​3, 4.

Laba ne Olubereberye 3:​19 ne Omubuulizi 9:​6, 10.

Waliwo Essuubi Lyonna nti Abafu Baliddamu Okuba Abalamu?

ENSONGA LWAKI ABANTU BEEBUUZA EKIBUUZO KINO: Twagala okuba abalamu, era twagala okunyumirwa obulamu nga tuli wamu n’abo be twagala. Kya mu butonde okwagala okuddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa.

EKYO BAIBULI KY’EYIGIRIZA: Abantu abasinga obungi ku abo abaafa bajja kuzuukizibwa. Yesu yasuubiza nti ‘bonna abali mu ntaana bajja kuvaamu.’ (Yokaana 5:​28, 29) Abo abanaazuukizibwa bajja kufuna akakisa okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi, ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali ku lubereberye. (Lukka 23:43) Abantu abawulize bajja kufuna obulamu obutaggwaawo era obutuukiridde. Baibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

Laba ne Yobu 14:14, 15; Lukka 7:​11-​17; ne Ebikolwa 24:15.

Nnyinza Kusaba Ntya Okusobola Okuwulirwa Katonda?

ENSONGA LWAKI ABANTU BEEBUUZA EKIBUUZO KINO: Kumpi abantu b’amaddiini gonna basaba. Kyokka, bangi bawulira nti okusaba kwabwe tekuddibwamu.

EKYO BAIBULI KY’EYIGIRIZA: Yesu yatuyigiriza okwewala okudiŋŋana ebigambo nga tusaba. Yagamba, “Bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo.” (Matayo 6:7) Bwe tuba twagala Katonda awulire okusaba kwaffe, tuteekwa okusaba mu ngeri gy’asiima. Okusobola okukola kino, twetaaga okuyiga ebyo Katonda by’ayagala era ne tusaba okusinziira ku ebyo bye tuba tuyize. 1 Yokaana 5:​14 lugamba nti: “Bwe tusaba ekintu nga [Katonda] bw’ayagala, atuwulira.”

Laba ne Zabbuli 65:2; Yokaana 14:​6, 14; ne 1 Yokaana 3:​22.

Nnyinza Ntya Okufuna Essanyu mu Bulamu?

ENSONGA LWAKI ABANTU BEEBUUZA EKIBUUZO KINO: Abantu bangi balowooza nti basobola okufuna essanyu singa baba ne ssente, ettutumu, oba endabika ennungi. Kino kibaleetera okuluubirira ebintu ng’ebyo​—kyokka ku nkomerero ya byonna beesanga nga tebafunye ssanyu.

EKYO BAIBULI KY’EYIGIRIZA: Yesu yalaga ekyo ekivaako essanyu bwe yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3, New World Translation) Okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, tuteekwa okukola ku bwetaavu bwaffe obusingayo obukulu, kwe kugamba, okumanya amazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye eri abantu. Amazima ago gasangibwa mu Baibuli. Okumanya amazima ago kisobola okutuyamba okumanya ebintu ebikulu n’ebitali bikulu. Bwe tugoberera obulagirizi bwa Baibuli, kitusobozesa okuba n’obulamu obulina ekigendererwa.​—Lukka 11:28.

Laba ne Engero 3:​5, 6, 13-​18 ne 1 Timoseewo 6:​9, 10.

Tulabye mu bufunze eby’okuddamu Baibuli by’ewa mu bibuuzo omukaaga ebiragiddwa waggulu. Wandyagadde okumanya ebisingawo? Bwe kiba nti oli omu ku abo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo,” awatali kubuusabuusa wandyagadde okumanya ebisingawo. Oyinza okuba ng’olina ebibuuzo ebirala bye weebuuza, gamba nga kino: ‘Bwe kiba nti Katonda atufaako, lwaki akkirizza ne wabaawo obubi n’okubonaabona okutuusiza ddala leero? Nnyinza ntya okulongoosa obulamu bw’amaka gange?’ Baibuli ewa eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo bino awamu n’ebirala bingi.

Wadde kiri kityo, bangi leero tebaagala kusoma Baibuli. Bagitwala okuba ekitabo ekinene ennyo era ekizibu okutegeera. Wandyagadde okuyambibwa osobole okufuna eby’okuddamu okuva mu Baibuli? Abajulirwa ba Yakuwa bakuwa ebintu bibiri ebisobola okukuyamba.

Okusookera ddala, akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? kategekeddwa okuyamba abantu abalina eby’okukola ebingi okutegeera obulungi eby’okuddamu Baibuli by’ewa mu bibuuzo ebikulu ennyo. Eky’okubiri, waliwo enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere mu maka gaabwe. Omujulirwa wa Yakuwa abeera okumpi naawe asobola okukukyalira mu maka go oba mu kifo ekirala kyonna ekikwanguyira, ne mukubaganya ebirowoozo ku Baibuli okumala ekiseera ekitonotono buli wiiki. Kino kikolebwa ku bwereere. Okwetooloola ensi yonna, abantu bukadde na bukadde baganyuddwa mu nteekateeka eno. Bangi ku bo batuuse n’okugamba nti: “Nzudde amazima!”

Tewaliiwo kya bugagga kisinga kino. Amazima ga Baibuli gatusumulula okuva mu bulombolombo, okubuzaabuzibwa, awamu n’okutya. Gatuwa essuubi, essanyu, n’ekigendererwa mu bulamu. Yesu yagamba nti: “Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”​—Yokaana 8:​32.