Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 86

Twetaaga Okuyigirizibwa

Twetaaga Okuyigirizibwa

(Isaaya 50:4; 54:13)

  1. 1. Mujje n’essanyu, muyige ku Yakuwa;

    ’Mazzi g’obulamu muganywenga.

    Eby’okuyiga, ye y’abituwa.

    Abayala bonna bakkusibwa.

  2. 2. Tukuŋŋaanenga ’watali kuddirira,

    Tuyigirizibwe ebigwana.

    Nga tuli wamu n’ab’oluganda,

    Ka tunywezebwenga mu mazima.

  3. 3. Nga kizzaamu amaanyi okuwulira

    Ebyogerwa ’bantu ba Katonda!

    Tubenga nabo obutayosa;

    Tubenga nabo buli kiseera.