Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 22

Obwakabaka Bwassibwawo—Ka Bujje!

Obwakabaka Bwassibwawo—Ka Bujje!

(Okubikkulirwa 11:15; 12:10)

  1. 1. Yakuwa, ggwe obeerawo

    Emirembe gyonna.

    Walonda dda Omwana wo

    Okuba Kabaka.

    Wateekawo ’Bwakabaka;

    Bwa kufuga ensi yonna.

    (CHORUS)

    Obwakabaka bwo

    Bwatandika okufuga,

    Kuba bwassibwawo.

    Kati tusaba nti: “Bujje.”

  2. 2. Ye Sitaani asigazza

    ’Kaseera katono.

    Bino biseera bya nnaku,

    Eby’essanyu bijja.

    Wateekawo ’Bwakabaka;

    Bwa kufuga ensi yonna.

    (CHORUS)

    Obwakabaka bwo

    Bwatandika okufuga,

    Kuba bwassibwawo.

    Kati tusaba nti: “Bujje.”

  3. 3. Bamalayika mu ggulu

    Bayimba n’essanyu.

    Sitaani Omulyolyomi

    Yagobwa mu ggulu.

    Wateekawo ’Bwakabaka;

    Bwa kufuga ensi yonna.

    (CHORUS)

    Obwakabaka bwo

    Bwatandika okufuga,

    Kuba bwassibwawo.

    Kati tusaba nti: “Bujje.”