Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 136

‘Empeera Enzijuvu’ Yakuwa gy’Awa

‘Empeera Enzijuvu’ Yakuwa gy’Awa

(Luusi 2:12)

  1. 1. Yakuwa mwesigwa era amanyi

    Bonna abamuweereza.

    Akimanyi nti emirundi mingi

    Babaako bye beefiiriza.

    Bw’oba waleka nju oba ba ŋŋanda,

    Katonda waffe alaba.

    Kati akuwadde ab’oluganda

    N’essuubi ery’ensi empya.

    (CHORUS)

    Yakuwa k’akuwe emikisa;

    K’akuwe empeera enzijuvu.

    Funa obuddukiro gy’ali.

    Yakuwa mwesigwa; Teyeerabira.

  2. 2. Oluusi tuwulira ng’ebizibu

    Bitususseeko obungi.

    N’oluusi ebitweraliikiriza

    Bitumalamu amaanyi.

    Bye weetaaga Yakuwa abimanyi;

    Awulira okusaba.

    Ekigambo kye era n’omwoyo gwe

    Bijja kukubudaabuda.

    (CHORUS)

    Yakuwa k’akuwe emikisa;

    K’akuwe empeera enzijuvu.

    Funa obuddukiro gy’ali.

    Yakuwa mwesigwa; Teyeerabira.