Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 131

“Katonda Ky’Agasse Awamu”

“Katonda Ky’Agasse Awamu”

(Matayo 19:5, 6)

  1. 1. Bagattiddwa leero

    Era balayidde,

    Mu maaso ga Katonda,

    Ne mu maaso gaffe.

    (CHORUS 1)

    Omwami alayidde

    ’Kwagal’o mukyala.

    Yee, ‘Katonda ky’agasse,

    Tekyawulwangamu.’

  2. 2. Basomye ’Kigambo

    Kya Katonda bombi,

    Bamanye by’ayagala

    Byonna nga bwe biri.

    (CHORUS 2)

    ’Mukyala alayidde

    Okwagalanga bba.

    Yee,‘Katonda ky’agasse,

    Tekyawulwangamu.’