Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 12

Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

(Okuva 34:6, 7)

  1. 1. Ai Yakuwa, ggwe agwanidde

    ’Ttendo erisingayo;

    Oli wa kitalo nnyo.

    Oli wa maanyi, wa magezi nnyo.

    Ggwe Katonda ’taggwaawo.

  2. 2. Oli wa kisa kingi Kitaffe.

    Ffe tetutuukiridde

    Naye otusembezza.

    Otuwabula; otuluŋŋamya.

    Ggw’otuyamba mu byonna.

  3. 3. Ggwe awulira essaala zaffe.

    Ka tukugonderenga

    ’Bulamu bwaffe bwonna.

    Katonda waffe tugwanidde ffe

    Okukutendereza.