Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
KIKI omusajja omu ow’omu Scotland kye yazuula nti kikulu okusinga bizineesi gye yali afunamu ssente nnyingi? Kiki ekyayamba omusajja omu ow’omu Brazil okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okukozesa ebiragalalagala? Omusajja omu ow’omu Slovenia yasobola atya okulekera awo okunywa ennyo omwenge? Soma olabe abantu abo kye bagamba.
“Obulamu bwe nnalimu bwali bulabika ng’obulungi.”—JOHN RICKETTS
NNAZAALIBWA: 1958
ENSI: SCOTLAND
EBYAFAAYO: NNALI MUNNABIZINEESI OMUGAGGA
OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnakulira mu maka gagagga. Olw’okuba taata wange yali mu ggye lya Bungereza, twabeerako mu bitundu bingi. Ng’oggyeeko Scotland, twabeerako mu Bungereza, mu Bugirimaani, mu Kenya, mu Malaysia, mu Ireland, ne mu Cyprus. Bwe nnaweza emyaka munaana, bazadde bange bansindika mu ssomero ly’ekisulo mu Scotland. Oluvannyuma nnafuna diguli mu yunivasite ya Cambridge.
Bwe nnaweza emyaka 20, nnafuna omulimu mu kampuni y’amafuta era nnakolera mu kampuni eyo okumala emyaka munaana. Nnasooka kukolera mu South America, oluvannyuma ne ŋŋenda mu Afirika, ate oluvannyuma ne ŋŋenda mu Australia. Bwe nnagenda mu Australia, nnatandikawo bizineesi eyange ku bwange era oluvannyuma nnagitunda.
Bwe nnatunda bizineesi eyo, nnafuna ssente nnyingi nnyo ne kiba nti kyali tekikyanneetaagisa kukola. Bwe kityo nnawummula ku myaka 40. Ebiseera byange nnabimaliranga mu kutambula. Nnavuga ppikipiki okwetooloola Australia yonna, era oluvannyuma nnavuga ppikipiki okwetooloola ensi. Obulamu bwe nnalimu bwali bulabika ng’obulungi.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Ne bwe nnali sinnatunda bizineesi yange, nnayagala okwebaza Katonda olw’obulamu obulungi bwe nnalimu. Nnatandika okugenda mu kkanisa y’Abapolotesitanti, kubanga eyo gye nnasabiranga nga nkyali muto. Naye mu kkanisa baali tebakozesa nnyo Bayibuli nga bayigiriza. Bwe kityo nnasalawo okugenda mu Bamomoni, naye olw’okuba bye bayigiriza tebyesigamiziddwa ku Bayibuli, eyo nayo nnavaayo.
Lumu Abajulirwa ba Yakuwa bajja ne bakonkona ku luggi lwange. Nnakirabirawo nti bye bayigiriza babyesigamya ku Bayibuli. Bansomera ekyawandiikibwa ekiri mu 1 Timoseewo 2:3, 4. Enyiriri ezo zigamba nti Katonda ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” Nnakwatibwako nnyo Abajulirwa ba Yakuwa abo bwe baagamba nti tulina okutegeerera ddala amazima agali mu Bayibuli.
Okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa kyansobozesa okuyiga amazima ago. Ng’ekyokulabirako, nnakitegeera nti Katonda ne Yesu si bamu ku bakatonda abasatu abakola Katonda omu, wabula nti Katonda wa njawulo ku Yesu. (Yokaana 14:28; 1 Abakkolinso 11:3) Nnasanyuka nnyo okuyiga amazima ago. Ate era nnawulira obusungu olw’ebiseera bye nnali nnyonoonye nga ngezaako okutegeera enjigiriza ezo ez’obulimba!
Amangu ddala, nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnakiraba nti bantu abooleka okwagala era abeeyisa obulungi. Okwagala okwa nnamaddala kwe balaga kwandeetera okukiraba nti nnali nzudde eddiini ey’amazima.—Yokaana 13:35.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Oluvannyuma lw’okubatizibwa, nnasisinkana omukyala ayitibwa Diane. Yali yayigirizibwa Bayibuli okuva mu buto, era yalina engeri ennungi ennyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, twafumbiriganwa. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okumpa omukyala omulungi ennyo era ampagidde ennyo.
Nze ne Diane twali twagala okugenda mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bwe kityo mu 2010, twagenda mu Belize, ekiri mu Amerika ow’Omu Massekati. Eno tubuulira abantu abaagala Katonda era abaagala okumanya ebimukwatako.
Nnina essanyu lingi nnyo olw’okuba nti nnayiga amazima agakwata ku Katonda, okuva mu Kigambo kye Bayibuli. Olw’okuba nneenyigira mu mulimu gw’okubuulira ekiseera kyonna, nfunye essanyu lingi nnyo mu kuyigiriza abantu abawerako amazima agali mu Bayibuli. Nsanyuka nnyo bwe ndaba engeri amazima gye gakyusaamu obulamu bw’abantu, nga bwe gaakyusa obwange. Kyaddaaki nnafuna engeri esingayo obulungi ey’okwebazaamu Katonda olw’obulamu bwe nneeyagaliramu.
“Bandaga ekisa kingi.”—MAURÍCIO ARAÚJO
NNAZAALIBWA: 1967
ENSI: BRAZIL
EBYAFAAYO: NNALI NNEENYIGIRA MU BIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU
OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnakulira mu kabuga akayitibwa Avaré, mu ssaza lya São Paulo. Abantu abasinga obungi mu kitundu ekyo baavu.
Taata wange yafa nga sinnazaalibwa. Bwe nnali nkyali muto, maama wange bw’ataabangawo, nneegezanga mu ngoye ze. N’ekyavaamu, nnatandika okweyisa ng’abakazi era abantu baatandika okuntwala ng’omulyi w’ebisiyaga. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnatandika okwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta n’abalenzi awamu n’abasajja.
Bwe nnali nnaatera okuweza emyaka 20, nnanoonyanga abantu ab’okwegatta nabo buli yonna gye nnali nnyinza okubasanga, ka babe bakazi oba basajja. Nnabanoonyanga mu mabaala, mu biduula, ne mu makanisa. Mu bikujjuko eby’okuyisa ebivvulu, nnayambalanga n’omukazi ne nzina. Nnali mmanyiddwa nnyo.
Abalyi b’ebisiyaga, bamalaaya, n’abakozesa ebiragalalagala be baali mikwano gyange. Abamu ku bo bankubiriza okutandika okukozesa ebiragalalagala era mangu ddala nnafuna omuze ogw’okukozesa ebiragalalagala. Oluusi twamalanga ekiro kyonna nga tukozesa ebiragalalagala. Ebiseera ebimu nneeyawulanga ku mikwano gyange egyo ne mbeera nzekka okumala olunaku lulamba, nga nkozesa ebiragalalagala. Nnakogga nnyo era abantu ne batandika okugamba nti nnalina siriimu.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Mu kiseera ekyo, nnasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa. Bandaga ekisa kingi. Ekimu ku byawandiikibwa bye bansomera kiri mu Abaruumi 10:13, awagamba nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” Ebigambo ebyo byandaga nti kikulu nnyo okukozesa erinnya lya Katonda. Emirundi mingi, oluvannyuma lw’okumala ekiro kyonna nga nkozesa ebiragalalagala, nnaggulangawo eddirisa ne ntunula ku ggulu, era ne nsaba Yakuwa nga nkaaba era nga mmwegayirira annyambe.
Olw’okuba nnali nneeraliikirira maama wange eyalumwanga ennyo olw’okukiraba nti ebiragalalagala byali byonoona obulamu bwange, nnasalawo okulekera awo okukozesa ebiragalalagala. Waayita ekiseera kitono ne nzikiriza okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Baŋŋamba nti okuyiga okwo kwandinnyambye okuba omumalirivu okulekayo emize emibi. Era ddala kwannyamamba!
Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti nnalina okukyusa enneeyisa yange. Ekintu ekyasinga okumbeerera ekizibu ennyo okulekayo kwe kulya ebisiyaga, kubanga nnali mmaze ekiseera kiwanvu nga nneenyigira mu muze ogwo. Naye ekimu ku bintu ebyannyamba ennyo kwe kukyusa emikwano n’ebifo mwe nnagendanga. Nnaleka emikwano gye nnalina, era ne ndekera awo okugenda mu mabaala ne mu biduula.
Wadde nga tekyambeerera kyangu kukola nkyukakyuka ezo, okukimanya nti Yakuwa anfaako era nti yali ategeera obuzibu bwe nnali mpitamu, kyannyamba okuzikola. (1 Yokaana 3:19, 20) Omwaka gwa 2002 we gwatuukira, nnali ndekedde awo okulya ebisiyaga era mu mwaka ogwo nnabatizibwa ne nfuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Maama wange yakwatibwako nnyo olw’enkyukakyuka ze nnakola, era naye n’atandika okuyiga Bayibuli. Kyokka eky’ennaku, yafuna obulwadde bw’okusannyalala. Wadde kiri kityo, akyayagala Yakuwa n’amazima agali mu Bayibuli.
Kati mmaze emyaka munaana nga mbuulira abantu amazima agali mu Bayibuli era nga mbayigiriza. Ekituufu kiri nti oluusi nfuna okwegomba okubi, naye nfuba okukulwanyisa. Okukimanya nti Yakuwa asanyuka nnyo bwe nsalawo obutakolera ku kwegomba okwo, kinnyamba okuba omumalirivu obutakukolerako.
Kati mpulira nga nnina ekitiibwa olw’okuba nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, era nneeyisa mu ngeri emusanyusa. Ndi musanyufu nnyo.
“Nnali kita ky’omwenge ekitalina ntobo.”—LUKA ŠUC
NNAZAALIBWA: 1975
ENSI: SLOVENIA
EBYAFAAYO: NNALI MUNYWI LUJUUJU
OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnazaalibwa mu Ljubljana, ekibuga ekikulu ekya Slovenia. Bwe nnali nga sinnaweza myaka ena, obulamu bwali bulungi. Naye oluvannyuma taata yetta. Oluvannyuma lwa taata okufa, maama yalina okukola ennyo okusobola okutulabirira, nze ne muganda wange omukulu.
Bwe nnaweza emyaka 15, nnatandika okubeera ne jjajja wange omukazi. Eky’okubeera ne jjajja wange nnakyagala nnyo, kubanga mikwano gyange egisinga obungi gyali gibeera mu kitundu gye yali abeera. Ate era nnalina eddembe eryali lisinga ku eryo lye nnalina eka. Bwe nnaweza emyaka 16, nnakola emikwano n’abantu abaagendanga okunywa omwenge ku wiikendi. Nnakuza enviiri era ne ntandika okumala geeyambalira. Nnatandika n’okunywa sigala.
Nnakozesanga ebiragalalagala eby’enjawulo, naye omwenge gwe nnasinga okwagala. Waayita ekiseera kitono ne nfuuka omunywi lujuuju. Wadde nga nnanywanga omwenge mungi, omuntu yabanga tasobola kukitegeera nti nnywedde omwenge mungi. Emirundi mingi omuntu okukitegeera nti nnywedde omwenge, yakimanyiranga ku mukka gwe nnabanga nzisa. Ne bwe kyabanga kityo, yabanga tasobola kukitegeera nti nneekatankidde omwenge ogw’ebika eby’enjawulo. Emirundi mingi, nze ne mikwano gwange twamalanga ekiro kyonna mu biduula nga tunywa.
Wadde nga nnabanga nnywedde omwenge ogukubisaamu gwe baabanga banywedde emirundi ebiri, nze nnabayambanga okutambula okudda eka. Lumu nnawulira omu ku mikwano gyange ng’agamba nti nnali kita ky’omwenge ekitalina ntobo. Enjogera eyo mu lulimi lwaffe etegeeza nti omuntu aba ayiseewo mu kunywa omwenge. Mu butuufu ekyo kye yayogera kyannuma.
Nnatandika okulowooza ku bulamu bwange. Nnali mpulira nga sirina mugaso, era nnali nkiraba nti saalina kintu kyonna kigasa kye nnali nkola.
ENGERI BAYIUBLI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Mu kiseera ekyo nnakiraba nti omu ku baana be nnali nsoma nabo yali akyuse nnyo; yali yeeyongedde okuba omukkakkamu. Olw’okuba nnali njagala okumanya ekyali kimuyambye okufuuka omuntu omukkakkamu, nnamuyita tugendeko mu kifo ekimu awatundirwa emmere tuliireko wamu. Bwe twali tunyumya, yaŋŋamba nti yali atandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Yambuulira ebimu ku bintu bye yali ayiga, era byonna byali bipya gye ndi kubanga nnali sigendangako mu kkanisa yonna wadde okusoma Bayibuli. Nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa n’okuyiga nabo Bayibuli.
Nnayiga ebintu bingi nnyo mu Bayibuli ebyandeetera okwagala okukyusa obulamu bwange. Ng’ekyokulabirako, nnayiga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.” (2 Timoseewo 3:1-5) Ate era nnayiga nti mu kiseera ekitali kya wala Katonda ajja kusaanyaawo abantu ababi ku nsi, kisobozese abantu abalungi okubeerawo emirembe gyonna mu nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. (Zabbuli 37:29) Ekyo kyandeetera okwagala okulekera awo okukola ebintu ebibi bye nnali nkola, nsobole okubeera omu ku bantu abo abalungi.
Nnatandika okubuulira ku mikwano gyange amazima ge nnali njiga mu Bayibuli. Abasinga obulungi banjerega. Naye ekyo kyanzuukusa. Kyannyamba okukiraba nti tegyali mikwano mirungi. Ate era nnakiraba nti ekizibu kye nnalina eky’okunywa ennyo omwenge kyalina akakwate n’emikwano egyo. Baamalanga wiiki yonna nga beesunga okuddamu okunywa omwenge ku wiikendi.
Nneekutula ku mikwano egyo ne nfuna emikwano emirungi mu Bajulirwa ba Yakuwa. Abajulirwa ba Yakuwa bannyamba nnyo, kubanga baagala Katonda era baagala okutambulira ku mitindo gye. Mpolampola, nnalekera awo okunywa omwenge.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nsiima nnyo Yakuwa kubanga tekikyanneetaagisa kusooka kunywa mwenge okusobola okuwulira nti ndi musanyufu. Muli nneebuuza bwe nnandibadde singa nneeyongera okutambulira mu bulamu bwe nnali ntambuliramu. Ndi mukakafu nti obulamu bwe ndimu kati bulungi nnyo.
Kati mmaze emyaka musanvu nga mpeerereza ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu Slovenia. Okumanya Yakuwa n’okumuweereza, kifudde obulamu bwange okuba obw’amakulu.

