Buuka ogende ku bubaka obulimu

Sitaani Afaanana Atya?

Sitaani Afaanana Atya?

Bayibuli ky’egamba

 Sitaani kitonde eky’omwoyo ekitalabika, ekitegeeza nti talina mubiri gwa nnyama gwe tusobola okulaba.—Abeefeso 6:11, 12.

 Abasiizi b’ebifaananyi bangi basiiga Sitaani ng’alinga ekitonde ekifaanana ng’embuzi ekirina amayembe, omukira, era nga kikutte wuma ennene. Abantu abamu bagamba nti ebifaananyi ng’ebyo byasooka kusiigibwa abasiizi b’ebifaananyi abaaliwo emyaka 1000 emabega abaali baatwalirizibwa obulombolombo n’enfumo ez’edda.

 Bayibuli ennyonnyola etya Sitaani?

 Bayibuli ennyonnyola Sitaani mu ngeri ez’enjawulo. Engeri ezo zituyamba okutegeera engeri za Sitaani so si endabika ye. Ezimu ku ngeri ezo ze zino:

  •   Malayika ow’ekitangaala. Yeefuula okuba nti alina ebirungi by’agaba ng’agezaako okuleetera abantu okugoberera enjigiriza ze mu kifo ky’okugoberera eza Katonda.—2 Abakkolinso 11:14.

  •   Empologoma ewuluguma. Alumba abaweereza ba Katonda mu ngeri ey’obukambwe.—1 Peetero 5:8.

  •   Ogusota ogunene. Atiisa, wa maanyi, era aleeta ebizibu bingi.—Okubikkulirwa 12:9.