Buuka ogende ku bubaka obulimu

Katonda Yatandika Ddi Okutonda Obwengula?

Katonda Yatandika Ddi Okutonda Obwengula?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli tetubuulira ddi Katonda lwe yatandika okutonda obwengula oba ebbanga lye yamala ng’abutonda. Egamba bugambi nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Olubereberye 1:1) Bayibuli tetubuulira ddi ‘olubereberye’ we lwabeererawo. Kyokka, ebintu ebyogerwako mu kitabo ky’Olubereberye biraga nti lwaliwo ng’ennaku omukaaga ez’okutonda tezinnatandika.

 Ennaku omukaaga ez’okutonda zaali nnaku ez’essaawa 24?

 Nedda. Mu Bayibuli, ekigambo “olunaku” kisobola okutegeeza ebiseera eby’enjawulo okusinziira ku ekyo ekiba kyogerwako. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku kutonda kwonna ng’okwaliwo mu lunaku lumu.—Olubereberye 2:4.

 Kiki ekyaliwo mu nnaku omukaaga ez’okutonda?

 Katonda yafuula ensi eyali “yeetabuddetabudde era nga njereere” ekifo ekirungi eky’okubeeramu. (Olubereberye 1:2) Oluvannyuma yatonda ebintu ebirina obulamu ku nsi. Bayibuli eyogera ku bintu bya mirundi mukaaga ebyaliwo mu nnaku ez’okutonda:

  •  Olunaku 1: Katonda yaleetera ekitangaala okutuuka ku nsi, ne kiviirako obudde obw’ekiro n’obw’emisana okubaawo.—Olubereberye 1:3-5.

  •  Olunaku 2: Katonda yakola ebbanga, oba yayawula amazzi agaali ku nsi ku ago agaali waggulu waayo.—Olubereberye 1:6-8.

  •  Olunaku 3: Katonda yaleetera ettaka olulabika. Ate era yatonda n’ebimera.—Olubereberye 1:9-13.

  •  Olunaku 4: Katonda yaleetera enjuba, omwezi, n’emmunyeenye okulabibwa ku nsi.—Olubereberye 1:14-19.

  •  Olunaku 5: Katonda yatonda ebiramu eby’omu mazzi n’ebyo ebibuuka mu bbanga.—Olubereberye 1:20-23.

  •  Olunaku 6: Katonda yatonda ebisolo n’abantu.—Olubereberye 1:24-31.

 Oluvannyuma lw’olunaku olw’omukaaga, Katonda yawummula, oba yalekera awo okutonda.—Olubereberye 2:1, 2.

 Ebyo ebyogerwako mu kitabo ky’Olubereberye ebikwata ku kutonda bikwatagana ne ssaayansi?

 Okutonda kw’ensi okwogerwako mu Bayibuli si kalonda akwata ku ssaayansi. Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli eyogera ku kutonda mu ngeri eyasobozesa n’abasomi ab’edda okuteegera amangu engeri Katonda gye yajja ng’atondamu ebintu eby’enjawulo. Ebyo Bayibuli by’eyogera ku kutonda tebikontana ne ssaayansi akakasiddwa nti mutuufu. Munnassaayansi ayitibwa Robert Jastrow agamba nti: “Kalonda yenna ayawukana, naye ebyo bannassaayansi bye boogera n’ebyo Bayibuli by’eyogera ku ngeri obulamu gye bwatandikamu, birina ekintu ekikulu ennyo kye bifaanaganya; ebintu ebyajja bibaawo okutuuka ku kutonda kw’omuntu byajjanga mangu, naye byonna birina we byatandikira.”

 Enjuba, omwezi, n’emmunyeenye byatondebwa ddi?

 Enjuba, omwezi, n’emmunyeenye byaliwo dda ng’ekitundu ‘ky’eggulu’ eryatondebwa ku “lubereberye.” (Olubereberye 1:1) Kyokka, ekitangaala kyabyo kyali tekituuka ku nsi olw’ekizikiza ekyali kikutte. (Olubereberye 1:2) N’olwekyo, wadde nga ku lunaku olwasooka ekitangaala kyali kirabika ku nsi, kyali tekisoboka kulaba wa gye kyali kiva. Ku lunaku olw’okuna, kirabika ekizikiza ky’ata. Bayibuli egamba nti enjuba, omwezi, n’emmunyeenye byatandika “okumulisa ensi,” kirabika byali bisoboka okulabibwa ku nsi.—Olubereberye 1:17.

 Okusinziira ku Bayibuli ensi ebaddewo kumala bbanga ki?

 Bayibuli tetubuulira bbanga nsi ly’emaze. Olubereberye 1:1 lulaga bulagizi nti obwengula nga mw’otwalidde ensi kwe tuli bwaliko entandikwa. Ekyo tekikontana ne ssaayansi akakasiddwa oba ebyo bannassaayansi bye boogera ku bbanga ensi ly’emaze.