Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Gasolo Aganene Ennyo Agayitibwa Dayinaso?

Bayibuli Eyogera Ki ku Gasolo Aganene Ennyo Agayitibwa Dayinaso?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli teyogera butereevu ku dayinaso. Kyokka eraga nti Katonda ye ‘yatonda ebintu byonna.’ Ekyo kitegeeza nti dayinaso ze zimu ku bintu Katonda bye yatonda. * (Okubikkulirwa 4:11) Wadde nga Bayibuli teyogera butereevu ku dayinaso, eyogera ku bika by’ensolo mwe ziyinza okugwa:

Dayinaso zaava mu nsolo endala?

 Nedda. Mu kifo ky’okujja nga zifuuka mpolampola, ebyazuulibwa biraga nti dayinaso zaaliwo mu kiseera kye kimu. Ekyo kikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba nti Katonda ye yatonda ensolo zonna. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 146:6 wagamba nti Katonda ‘yakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu.’

Dayinaso zaaliwo ddi?

 Bayibuli eraga nti ensolo ez’omu nnyanja n’ez’oku lukalu zaatondebwa ku lunaku olw’okutaano n’olw’omukaaga olw’okutonda. * (Olubereberye 1:20-25, 31) Ekyo kiraga nti dayinaso zaaliwo okumala ekiseera kiwanvu.

Ensolo eziyitibwa Leviyasani zaali dayinaso?

 Nedda. Wadde ng’ensolo eyitibwa Leviyasani eyogerwako mu kitabo kya Yobu temanyiddwa bulungi, eyinza okuba nga ye ggoonya. Ekyo kikwatagana n’engeri ensolo eyo gy’ennyonnyolwamu mu Byawandiikibwa. (Yobu 41:1, 14-17, 31) N’olwekyo, “Leviyasani” teyinza kuba nga yali dayinaso. Katonda yagamba Yobu yeetegereze ensolo eyo, kyokka nga Yobu we yabeererawo dayinaso zaali tezikyaliwo.—Yobu 40:16; 41:8.

Kiki ekyatuuka ku dayinaso?

 Bayibuli teyogera ku nsonga lwaki dayinaso zaasaanawo. Naye Bayibuli eraga nti ebintu byonna byatondebwa ‘olw’okusiima kwa Katonda.’ N’olwekyo, Katonda yalina ekigendererwa ng’atonda dayinaso. (Okubikkulirwa 4:11) Ekigendererwa ekyo bwe kyatuukirira, yazireka ne zisaanawo.

^ lup. 1 Waliwo ebyazuulibwa ebikakasa nti dayinaso zaaliyo. Mu butuufu, ebyazuulibwa biraga nti waliwo ekiseera dayinaso we zaabeererawo mu bungi, era mu bika eby’enjawulo ne sayizi ez’enjawulo.

^ lup. 6 Mu Bayibuli, “olunaku” luyinza okutegeeza ekiseera ekiwanvu ekyenkana enkumi n’enkumi z’emyaka.—Olubereberye 1:31; 2:1-4; Abebbulaniya 4:4, 11.