Ebyali Byakateekebwa Awatandikirwa
Obwakabaka bwa Katonda Buli mu Mutima Gwo?
Bayibuli eba etegeeza ki bw’egamba nti “obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe”?
Bye Tuyigira ku Ebyo Yesu bye Yayigiriza—Funayo Obudde Oyige Ebikwata ku Katonda
Baako ky’oyigira ku ebyo Yesu bye yayigiriza ng’ofunayo obudde okuyiga ebikwata ku Katonda.
Ebikwata ku Buweereza bwa Yesu
Mu vidiyo zino, yiga ebisingawo ebikwata ku Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, era Omulokozi w’abantu.
Ebisobola Okukuyamba ng’Ebbeeyi y’Ebintu Erinnye—Kozesa Bulungi Ssente
Weetegereze amagezi ga mirundi etaano agasobola okukuyamba okukozesa obulungi ssente zo.
Kirabo Ki Ekisinga mu Byonna?
Singa Katonda asalawo okukuwa ekirabo, kirabo ki kye wandyagadde akuwe?
Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku Kusiima Abalala?
Okusiima abalala kivaamu emiganyulo mingi. Kisobola kitya okukuganyula, osobola otya okukulaakulanya engeri eyo?
Okusalawo Kukwo!
Abamu bakkiriza nti buli ekibatuukako mu bulamu Katonda yakiteekateeka dda. Naye ddala ekyo kituufu?
Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?
Bwe tuba tulina kye twagala okusalawo, tutera okwebuuza ku muntu atusinga obukulu n’obumanyirivu. Mu ngeri y’emu, tusobola okufuna amagezi ageesigika agasobola okutuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.
Abajulirwa ba Yakuwa Bakristaayo ab’Amazima?
Laba ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa era ofune obukakafu obulaga nti be Bakristaayo ab’amazima.
Osobola Okwesiga Bayibuli?
Weetegereze engeri ssaayansi gy’akwataganamu ne Bayibuli, era weetegereze obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli obwewuunyisa.
Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
Laba ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kufa, era weeyongere okunyweza okukkiriza kw’olina mu Katonda ow’okwagala atabonyaabonya bantu nga bafudde.
Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
Yesu bwe yali ku nsi yalaga ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola.
Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!
Laba obukakafu okuva mu Bayibuli obulaga nti abafu basobola okuzuukira era nti bajja kuzuukira. Laba engeri okumanya nti eriyo okuzuukira gye kiyinza okukubudaabuda n’okukuwa essuubi.
Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?
Manya ensonga bbiri lwaki wandikkirizza Bayibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso eby’essanyu.
Katonda y’Ani?
Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’ebitiibwa bya Katonda n’erinnya lye. Ate era laba engeri gy’akumanyisaamu erinnya lye n’ensonga lwaki alikumanyisa.

