Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yayigira ku Basibe

Yayigira ku Basibe

 Mu mwaka gwa 2011, waliwo omusajja eyava mu Eritrea n’agenda e Norway okunoonya obubudamu. Abajulirwa ba Yakuwa bwe baagenda okumubuulira, yabagamba nti yali yasisinkanako Abajulirwa ba Yakuwa ng’akyali mu Eritrea. Yabagamba nti bwe yali akyaweereza mu magye, yakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa abaasibibwa olw’okukkiriza kwabwe baagaana okuyingira amagye, wadde nga baatulugunyizibwa nnyo.

 Oluvannyuma, omusajja oyo naye yasibibwa mu kkomera. Mu kkomera mwe baamusibira yasangamu Abajulirwa ba Yakuwa basatu—Paulos Eyasu, Negede Teklemariam, ne Isaac Mogos—abaasibibwa olw’okukkiriza kwabwe era nga babadde mu kkomera okuva mu 1994.

 Bwe yali mu kkomera, omusajja oyo yeerabirako n’agage nti Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku ebyo bye bayigiriza. Yakiraba nti beesigwa era baagabananga emmere yaabwe n’abasibe abalala. Era yalaba basibe banne Abajulirwa ba Yakuwa nga basomera wamu Bayibuli buli lunaku, era nga bayita abalala okubeegattako. Bwe baabasuubiza okubasumulula singa bassa omukono ku kiwandiiko ekiraga nti tebakyali Bajulirwa ba Yakuwa, baagaana.

 Omusajja oyo bye yalaba byamukwatako nnyo, era bwe yatuuka mu Norway, yayagala okumanya ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa balina okukkiriza okw’amaanyi. Bwe kityo Abajulirwa ba Yakuwa bwe baamutuukirira, yatandikirawo okuyiga Bayibuli n’okugenda mu nkuŋŋaana zaabwe.

 Mu Ssebutemba 2018, yabatizibwa n’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kati akozesa buli kakisa k’afuna okubuulira abantu abava mu Eritrea n’e Sudan, n’okubakubiriza okuyiga Bayibuli basobole okuba n’okukkiriza okunywevu.